WIIKI ewedde ebintu byatabuse, muka munnange bwe yazze n’atugwako nga twesozze ‘room’ okwebalula. Bannange, omukazi yatuguddeko nga ffembi nneetiwaaka eri waggulu nga teriiko bya kunoonya era ekikolwa kye yakoze, nakituumye ‘kutabangula ssanyu.’
Omukazi bwe yeecwacwanye n’ayombesa bba nga amubuuza ky’annoonyaako yem ky’atamuwa, nneesiseemu ne nzira ku bbali nga ndaba ebigenda mu maaso bisusse entegeera yange. Kyokka wakati mu kusoberwa, natunudde ku munnange era amaaso gaggukidde ku mutaka ne ndaba nga eyabadde awaga nga kw’atadde n’okweswanta, awotose alinga atannasunguwalako!
Wabula nnakooneddemu Daddy Joel ate bwe yasise ttawulo ne yeesiba n’alumba mukazi we.
Yamukutte n’emikono ebiri ate n’amaanyi amangi n’amunyeenya mu bukambwe obw’ekitalo. Wamma yakaayuukidde omukazi nange we nabadde ne ntyamu. Yamugambye nti: “Maama Joel, onjagaza ki? Lwaki onnondoola? Mukazi ggwe ommazeeko emirembe! Ombuuza kye nnoonya? Kiki ky’ompa? Mukazi ggwe kiki ky’ompa? Wano mmaze ebbanga nga buli lwe nkukoonako, otuluna eri, ondaga nti tokyanneetaaga.
Onzisizza ennyonta ebbanga ddene. Oyagala nkole ki? By’otoyagala kumpa, munno asazeewo abimpe, ate era onnondoola...” Nze nabadde ndowooza nti ke batusanze ne batukwata lubona nga twenaanise essuuti ya Adam, omusajja agenda kukkakkana yeetondere mukyala we. Era nabadde mmusuubira okuntabukira, kale angobewo yeetoowaze mu maaso ga mukyala we. Naye kyambuuseeko nga ndaba ebintu bitambula kifuulannenge.
Nnabadde nkyali mu kwewuunya nnalabidde awo nga amuyisizzaamu empi nga bw’amulabula obutaddamu kumulondoola mbu kuba ye omusajja alina by’anoonya
nti, by’atafuna waka.
Nalabye ensonga zirandazze nga ziyingiddemu okuwujja empi, ne nneesiba akaleesu mu bwangu obw’ekitalo era mu kaseesa mpaawo kaaga, nabadde natuuse dda mu mmotoka yange. Jjukira engoye zaabadde eri gye twambalira era saatawaanye kugendayo nga
ndaba emberenge egaze.
Olwesozze emmotoka yange ne ngisimbula ne nneggyawo! Nagambye nti, Sandra waabwe ebinaddirira binangwa nkoto era kirabika be nayiseeko nga nvuga emmotoka
endiima, baasigadde beebuuza eyazaala embalangu y’omukazi. Natuukidde waka kyokka emmo- Ssenga Bukedde 11 Lwakubiri June 23, 2026 toka nagisimbye kumpi ku mulyango. Omukozi wange yamanyiira eby’okunku-lisaayo nga bw’aggula bbuutu alabe bye ndeese, naye ku luno kyamubuuseeko. Anti naggudde oluggi lw’em-motoka ne mmuyitako kasaawuuko kumpi kumutomera, ne nneesogga ekisenge kyange nga nzenna nninga aliko ekimpujja. Nagudde ku buliri, ne nzisa ekikkowe nga mu mazima byonna ebintuuseeko mbyewuunya. Nayagadde okuyingira ekinaabiro nnaabeko, ne mpulira ng’ate saagala kunaaba. Ne nsika bulangiti mbu nneebikke, nga naye sirina tulo! Ne
mbeera awo mu kusoberwa wakati mu birowoozo