Kabadde kaseera kabuyinike ku kyalo Kikerere e Bukulula mu Kalungu nga baziika omwana ow'emyaka 5, omu kubaafiiridde mu muliro ogwakutte ekisulo ku ssomero lya Kasaana Junior e Nyendo Mukungwe mu disitulikiti y’e Masaka.Mu kusooka gavumenti edduukiridde abazadde b’abaana bano n’ensimbi obukadde 50.