Amawulire

Minisita Kyofatogabye alabudde abakungu ba Gavumenti okweddiza akatale ke Waakiso

MINISITA omubeezi owa Kampala, Kabuye Kyofatogabye alabudde abakozi ba Gavumenti e Wakiso abanetantala okusaba emidaala mu katale akagenda okuzimbibwa nti bano bajja kukwatibwa nga ssemateeka w’eggwanga bwalambika.   

Minisita omubeezi omubeezi owa Kampala Kyofatogabye ng'atongoza okuzimba akatale ke Wakiso
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision
MINISITA omubeezi owa Kampala, Kabuye Kyofatogabye alabudde abakozi ba Gavumenti e Wakiso abanetantala okusaba emidaala mu katale akagenda okuzimbibwa nti bano bajja kukwatibwa nga ssemateeka w’eggwanga bwalambika.
Kyofatogabye yasinzidde Wakiso bweyabadde akwasa bakontulakita ba TECHNO 3 omulimu gw’okuzimba akatale ka Wakiso Central Daily Market akamaze emyaka 19 nga abasuubuzi basaba Gavumenti ekabazimbire.
 
Yagambye nti akatale kano Gavumenti ekazimbidde basuubuzi bamufuna mpola, nga mu kino tasuubiramu bakozi ba Gavumenti kuba ne ssemateeka w’eggwanga akilambika bulungi nti bano tebalina kuweebwa bifo mu katale.
Minisita Kyofatogabye nga atongoza okuzimba akatale

Minisita Kyofatogabye nga atongoza okuzimba akatale

 
Kyofatogabye era yasuubizza aba Wakiso nti Gavumenti erina enguudo ezimu zegenda okukwatako okuli Kiwoko- Bujuuko, Kawoko-Muyomba, Kira-Matugga-Wakiso-Buloba nendala okulaba ng’ate abasuubuzo abawereddwa akatale batambuza bulungi emaali yaabwe.
 
“Tukimanyi nti Wakiso yeyaniriza abagenyi be Kampala, twasalawo okugigatta ku minisitule ya Kampala tukole ebintu by’enkulakulana ng’obutale, enguudo nendala.” Kyofatogabye bweyayongeddeko.
 
Yabakuutidde okukwata obulungi akatale bwekanaaba kawedde, era nasaba n’abasuubuzi okufaayo okwongera omutindo kubyebatunda ssaako okukuuma obuyonjo olwo basobole okwenyumiriza mu pulojekiti empya ebawereddwa.
Yinginiya wa disitulikiti ya Wakiso, Lillian Namutebi yategezezza nti akatale ak’omulembe kagenda kuwemmenta obuwumbi 23 nga kakuzimbibwa okumala omwaka gumu n’ekitundu.
 
Namutebi yagambye nti ku katale kugenda kubeerako emidaala, obuyumba, ofiisi, ekifo ewapakinga mmotoka, ekifo ewakunganyizibwa kasasiro, woteeri webafumbira emmere, ekifo webabangulira abantu kubintu eby’enjawulo nebirara.
 
Yayongeddeko nti abasuubuzi bali 600 abakolera mu katale kano kyokka nti kebagenda okuzimba kamyaliriro esatu nga kagenda kugendamu abasuubuzi abasoba mu 100 ate nga bakolera awantu ewagazi.
Okutomgoza okuzimba akatale ke Wakiso

Okutomgoza okuzimba akatale ke Wakiso

 
Ye Monica Edemachu okuva mu minisitule ya Kampala, yalabudde bakontulakita abawereddwa okuzimba akatale okukola ebyo byokka ebyaatereddwa ku kontulakiti pulojekiti esobole okukolebwa obulungi.
 
“Tubawadde omwaka gumu n’ekitundu, nsaba mukolere mweryo ebbanga, nga bwekitaakolebwe, ssente zijja kuddizibwayo zikole emirimu emirara. Tusaba muleme kukola gadibengalye olw’okuba mwagala okufuna ekiwera.” Edemachu bweyayongeddeko.
 
Yategezezza nga bwagenda okusindika ababalirizi b’ebitabo ssaako abakola kunsonga z’abakozi okulaba ng’abakozi basasulwa bulungi ate nga ne ssente zisasanyizibwa mu makubo amatuufu.
 
Ye ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso, Eng. Ian Kyeyune yategezezza nti ensonga y’akatale baagitandika mu 2007 era mu kiseera weyaberera ssentebe, yalina ekirubirirwa kyakulaba nga Wakiso abeera n’obutale obw’enjawulo abasuubuzi basobole okukola ewatali kutataganyizibwa.
 
Yategezezza nti engeri gyali yinginiya, agenda kufuba okulaba ng’alondoola pulojekiti y’akatale, n’enguudo okulaba nga tewali gadibe ngalye akolebwa, kuba bangi bawereddwa kontulakiti naye ate nebafa kukulya ssente mukifo ky’okukola emirimu mubutuufu bwagyo
Tags: