Amawulire

Ekigo ky’e Kkonge kijaguzza emyaka 84 bukya kigunjibwawo Abasosodooti

Ekigo ky’e Kkonge kijaguzza emyaka 84 bukya kigunjibwawo Abasosodooti

Ebikujjuko
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Ekigo ky’e Kkonge kijaguzza emyaka 84 bukya kigunjibwawo Abasosodooti Abaminsane, ab’ekibiina kya White Fathers. Bwanamukulu Fr. Denis Ssekamaanya asinzidde kumukolo guno n’alangirira kaweefube ow’okuddaabiriza n’okuyooyoota klezia y’ekigo kino, mukiseera kino etalabika bulungi, ate ng’efunye n’ebikyamu ebiwerako, olw’obukadde. Ategeezezza nti omulimo gwonna gwakumalawo obukadde bw’ensimbi za Uganda nga 250, n’asaba Abakristu, ab’emikwano, n’abantu bonna ab’omwoyo omulungi, okubakwatizaako ku ddimu lino.

Abaana

Abaana

Omukolo gw’abadde ku klezia e Kkonge, mu disitulikiti y’e Mpigi, gyebuvudeko (nga May 31, 2026). Gwetabiddwako abanene b’ekitundu bangi, okw’abadde omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mpigi, Teddy Nambooze, Ssentebe wa disitulikiti Simon Peter Kawuki, Meeya wa Mpigi Town Council Faridah Ssempala, Hon Hillary Innocent Kiyaga (Dr. Hilderman), Kayima eyawummula, Gabriel Kabonge, n’abalala bangi. Bano bonna baawaddeyo ensimbi eziwerako, okudduukirira omulimo guno.

Ekigo ky'Ekkonge

Ekigo ky'Ekkonge

Omubaka wa Paalamenti owa Bamunanika County, Robert Ssekitoleko, ey’abadde omugenyi omukulu, naye y’awagidde omulimo guno, n’ensawo za sseminti ezisukka mu 100, n’asuubiza n’okukunga ab’emikwano, nabo bawagire omulimo guno.

Abamu ku baana abeetabye mu bikujjuko

Abamu ku baana abeetabye mu bikujjuko

Ekitambiro kya mmisa ky’akulembeddwa eyali Viika Genero, Msgr. Charles Kasibante, eyakulisizza Abakristu b’e Kkonge, olw’ekigo kyabwe okusajjakula, wabula n’abasoomooza, okukkiriza kwabwe bakwolese mubigambo, n’ebikolwa byabwe, Y’abakubirizza okufuba okutambulira awamu, n’okukolera awamu, ekigo kyabwe ky’engere okukulaakulana.

Mu mmisa eno, Msgr. Kasibante y’agattiddemu n’omugogo gw’abagole, naweeramu n’abaana abasukka mu 150 Komunyo embereberye.

Tags: