Amawulire

KCCA etadde amaanyi mu nkola ya weyonje okutumbula obuyonjo mu Kibuga

AMYUKA akulira ekitongole kya KCCA Benon Moses Kigenyi asabye bannakampala okukomya okusasanya kasasiro buli webasanze kuba kino kivaako obucaafu okubina ekibuga.

Aba kcca nga bayonja ekibuga
By: Racheal Nankya, Journalist @New Vision

OMUMYUKA W'akulira ekitongole kya KCCA Benon Moses Kigenyi asabye bannakampala okukomya okusasanya kasasiro buli webasanze kuba kino kivaako obucaafu okubina ekibuga.
Okwogera bino abadde akulembeddemu ab'ekitongole kya KCCA mu kugogola emyala e Kawaala n'okuyoola kasasiro wansi w'enkola emanyiddwa nga   "Weyonje" 

Ab'ekitongole kya KCCA nga bayonja ekibuga

Ab'ekitongole kya KCCA nga bayonja ekibuga



Enkola ya "Weyonje" yaleetebwa KCCA okugenda mu bitundu eby'enjawulo okubirongoosa wamu n'abatuuze baayo nga babakubiriza okukuuma obuyonjo

Dr. Sarah Zalwango akulira eby'obulamu mu KCCA abakuutidde okwewala obujama obuviirako endwaddde ezitali zimu ne zibatwalako ssente mu kwejjanjaba kyoka nga balizikozeseza okwekulakulanya

Aba KCCA nga bayonja ekibuga

Aba KCCA nga bayonja ekibuga



Asiimye ekitongole kya NEMA okubawa awaadi olw'okubeera ekitongole ekisinze okuyonja ekibuga olw'enteekateeka ez'enjawulo zebataddewo okuyonja ekibuga.

Kkansala atwala ekitundu kya Kawaala zzooni 3 Eddie Wasajja atendereza enkola ya "Weyonje" nti ekoledde ddala okutumbula obuyonjo mu bantu era n'asaba KCCA okubongera ku bimotoka ebikungaanya kasasiro
Tags: