Amawulire

NIRA etandise okugabira abagwira endagamuntu

EKITONGOLE ekivunanyizibwa okuwandika abantu mu ggwanga  ekya NIRA kitandise okuwa abagwira densite oluvannyuma lw’okufuna ebibakwatako n’okutukiriza ebisaanyizo.

NIRA etandise okugabira abagwira endagamuntu
By: Eria Luyimbazi, Journalist @New Vision

EKITONGOLE ekivunanyizibwa okuwandika abantu mu ggwanga  ekya NIRA kitandise okuwa abagwira densite oluvannyuma lw’okufuna ebibakwatako n’okutukiriza ebisaanyizo.

 

Omwogezi w’ekitongole kino, Osborn Mushabe yagambye nti NIRA yasazeewo okuwandiika abagwira bonna ababeera mu ggwanga mu mateeka baweebwe densite kibasobozese nabo okubeera n’ebiboogerako wabula nga desite yaabwe ya njawulo ku eyo eweebwa Bannayuganda.

 

Yagambye nti abagwira abaamaze okwewandiisa ne bafuna densite zijja kubasobozesa okukola ebintu eby’enjawulo omuli okubayamba okuggulawo akaawunti mu bbanka, okuwandiisa essimu zaabwe wamu n’okufuna empeereza ez’enjawulo.

 

Yagambye nti NIRA yatandika okuwandiika abagwira bonna nga June 10, 2026 nga kati batandise okuzigabira abo abamaze okutuukiriza ebisaanyizo.

 

Claire Ollam, avunaanyizibwa ku by’endaga muntu mu NIRA, yagambye nti ekitongole kyakawandiika abagwira 1875 nga kkaadi 1500 ze zaakafulumizibwa.

 

Yagambye nti waliwo obukwakkulizo abagwira bwe balina okutuukiriza bwe banaaba baakufuna densite omuli okuba n’empapula ezibakirizza okubeera mu ggwanga okusasula ssente z’okwewandiisa emitwalo 37 buli omu era nga omuntu bw’amaliriza ebyo asobola okugenda ne yeewandiisa n’aweebwa ndagamuntu.

 

 Yategeezezza nti waliwo abagwira abatalina biwandiiko nti bano tebakkirizibwa kwewandiisa wabula bo abanoonyi b’obubudamu balina okugenda ne bafuna ebiboogerako okuva mu ofiisi ya Kattkiro wa Uganda.

 

Yagambye nti densite eweebwa abagwira ya njawulo ku eyo eweebwa Bannayuganda ng’erimu langi eya kiragala era ng’eriko n’ekkomo kuba abagwira bonna ebiwandiiko bye balina biriko ebbanga kwe likoma nga ne densite kw’ekoma

 

Tags:
NIRA
Kuwandiika
Bagwira
Densite
Ndagamuntu