Amawulire

Akabenje katuze babiri ku luguudo oluva

ABANTU babiri ,bafiiridde mu kabenje akagudde e Ndolwa ku luguudo oluva e Kamuli  okudda e Bukangu mu Buyende,n'abalala ne bagendera ku bisago.

Akabenje katuze babiri ku luguudo oluva
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU babiri ,bafiiridde mu kabenje akagudde e Ndolwa ku luguudo oluva e Kamuli  okudda e Bukangu mu Buyende,n'abalala ne bagendera ku bisago.

Kabaddemu loole ekika kya Tata nnamba  UA 943 CU bw'etomereganye ne pikipiki nnamba UEF 183V Bajaj Boxer .

Babiri okuli Susan Namaganda 45  ow'e Nabigaga mu Ggombolola y'e Ndolwe e Buyende ne Marry Kanyago 2, be baafiiriddewo ate abalala okuli Brenda Mbwali 23 ne Sebastian Kitimbo 48 nga ye muvuzi wa bodaboda, batwaliddwa mu ddwaliro nga bafunye ebisago.

Kigambibwa nti owa boda abadde ayimiridde ku mabbali g'oluguudo okufuna amafuta nti n'oluvannyuma asseeko abasaabaze {kati abagenzi} ,wano dereeva wa loole n'emulemerera mu kkoona n'abayingirira .

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North , Samson Lubega, agambye nti abakoseddwa, batwaliddwa mu ddwaaliro lya Kidera Health centre 111 okufuna obujanjabi ng'okunoonyereza ,kugenda mu maaso.

Tags:
Susan Namaganda
kabenje
Ndolwe e Buyende
poliisi
boda

Emboozi Ezifanagana