OKUWOZESA omusajja Kulayisi Kamugisha ng’oluusi yeeyita Fred Mujulizi kwatandise mu kkooti enkulu e Masaka etuula mu kisaawe ky’essaza, oludda oluwaabi ne lutandikirawo okuleeta abajulizi okulaba nga Kamugisha gumukka mu vvi.
Kamugisha yaleeteddwa ku kkooti ng’essaawa zikunukkiriza okuwera ebbiri ez’oku makya nga yaggyiddwa mu kkomera e Masaka gye yasuziddwa okuva e Luzira gy’akuumirwa.
Ebikumi n’ebikumu by’abantu omwabadde n’aba ffamire z’abantu abasoba mu 80 abagambibwa okuttibwa Kamugisha, beeyiye ku ssaza okugoberera omusango guno ogw’ebyafaayo
Kamugisha baasoose kumusomera musango gw’okutta omuwala atannategeerekeka bimukwatako, nga yamusalako ebitundu by’omubiri ebyenjawulo; omutwe n’agusuula ku kyalo ekimu, ekiwuduwudu nakyo n’akisuula awalala. Kigambibwa nti ebitundu by’omubiri ebimu okuli ebbeere, omukono ogumu n’ebigere yabirya.
Oludda oluwaabi lukulembeddwa Jonathan Muwaganya ng’ayambibwako Priscilla Nyakake ne Abraham Akandekaho ate Kamugisha gavumenti yamuwadde Magezi Kaliba ne Annet Natuhwera.
Omulamuzi Vincent Wagona y’aguli mu mitambo era yalagidde enjuyi zonna okwetegeka obulungi kubanga omusango gugenda kuwozesebwa buli lunaku awatali kwosaamu. Olunaku olwasoose ku Mmande, gwatambudde bwe guti, kigambo ku kigambo;
Omulamuzi: Kamugisha oleeteddwa ng’ovunaanibwa gwa butemu. Naye nga sinnakusomera ogenda kukozesa lulimi ki??
Kamugisha: Runyankole.
Omulamuzi: Kale kigambibwa nti nga September 28, 2026 ku kyalo Mugamba n’ettima ssaako ekigendererwa ekirowoozeddwaako, watta omuntu nga yali mukazi ataamanyika mannya.
Kamugisha: Mbiwulidde naye sibimanyiiko.
Omulamuzi: Oludda oluwaabi mwetegese?
Muwaganya : Twetegese naye tulina bye twakkaanyizzaako ne bannamateeka b’omuwawaabirwa by’ansaba okusooka okwanjulira kkooti.
Muwaganya: Twakkiriziganyizza ku bino wammanga: Nga October1,2026 yajjuza ekiwandiiko ekya Police Form A okwekebejja omutwe gw’omukyala ogwasangibwa nga gupakiddwa mu nsawo ne gusuulibwa ku luguudo lwa Kako- Mukungwe mu ggombolola y’e Mukungwe mu kibugwa Masaka nga gwazuulibwa nga September 29,2026.
Kamugisha: Kye mbuuza omutwe baagumusangako oba ebbali w’ekkubo.
Muwaganya : Tebaagumusangako
Ebirala D/SP Nadudu Bena yasaba okwekebejja ekiwuduwudu ky’omukazi Ku foomu ya poliisi nnamba 48. Ekiwuduwudu kino kyasangibwa ku kyalo Mugamba.
Obujulizi obwokusatu twakkiriziganyizza nti Dr Ssenyonjo F.M omusawo era okumukugu wa poliisi, nga October 1,2026 yeekebeggya omutwe gw’omukazi n’azuula nga baagutema ku nsingo, omutwe gwali musibe enviiri ng’alina ne ppini mu matu era gwali gutandise okuvunda ng’ebitundu by’omubiri ebirala tebiriiko. Ekyaviirako okufa kwali kuvaamu omusaayi omuyitirivu.
Omusawo yazuula ku ‘foomu 28b’ nti ebintundu by’omukazi ebirala byali byaleeteddwa mu ggwanika nga September 30, 2026 n’alagira bakebere endagabutonde okuzuula oba bya muntu omu. Dr Ssenyonjo oyo nga 31, October yakebera ekiwuduwudu ky’omukazi. Yali ayambadde akawale akeeru, ng’ayambadde ppeti, ng’omubiri gutemeddwa ku nsingo ng’era gutandise okuvunda. Yazuulibwa nti ekitundu ky’omutwe kyali tekiriiko ng’era ensigo yatemebwako omulundi gumu. Ebigere byali bitemeddwaako. Omubiri amagumba gaali geeyerudde, ng’ate awamu gwekutte wamu. Ekyamuviirako okufa kwali kuvaamu omusaayi omuyitirivu. Dr Ssenyonjo yagamba nti mu ggwanika waaliyo omutwe ogwali gwatemeddwa ku nsingo nga gulina enviiri ensibe ne ppini mu matu. Naalagira bakebere omutwe n’omubiri oba bikwatagana era sampo ne zitwalibwa okwekebejja endagabutonde.
Tuleese poliisi ‘foomu 48A’ eyakolebwa nga October 1,2026 ,era n’ebbaluwa eya September 30,2026. Foomu 48B ku kwebekebejjera omutwe nga October 1, 2026. Lipooti eya ‘48A’ kwe kwebekebejjerwa ekiwuduwudu.
Omulamuzi: Alipoota ezo ziteereddwa Ku biwandiiko bya kkooti ng’ebiziti by’oludda oluwaabi . Okitegedde??
Kamugisha: Ye mbitegedde.
Omulamuzi: Kale tugenda kussaako emikono, abawaabi ne baalooya nnamwe aba Kamugisha.
Muwaganya: Twetegese okuleeta omujulizi asooka.
OMUJULIZI ASOOKA
Nze Ssemugobe Baka nga manyiddwa nga Bugumya Beekalaze (50) nsoma ddiini ya Kikatoliki. Ndayira kwogera amazima. Ku lwa Katonda n’ensi yange.
Muwaganya: Obeera wa??
Beekalaze: Mbeera Kako, mu muluka gw’e Ssamaliya mu ggombolola y’e Nyendo-Mukungwe mu Masaka City. Nzimba n’okulima.
Muwaganya: Wali ludda wa nga September 29, 2026.
Beekalaze: Nnali Kako
Muwaganya : Waaliyo ekyatuukawo ky’ojjukira ku musango guno ?
Beekalaze: Lwali Lwakubiri nga September 29, omukozi wange, Kazibwe Ronald, yampita nga waliwo ensawo esangiddwa ku kibanja kyange. Nang’amba jangu tugirabe ne ng’endawo, bwe nnagiraba ne mmubuuza ogikutteko, nang’amba tannagikwatako. Namugamba tugende tuyite poliisi ekebere kiki ekirimu. Twagenda ku poliisi ya Kako Police Post. Ne tusangayo abaserikale era ne tubategeezaako nti ku kibanja kyaffe waliwo ensawo naye erabika eruddewo ng’enkuba yatonnye kiraga yasammusseeko n’ettaka. Ku poliisi twasangawo Mr Okectch, Najjuuko ne Twazangoba. Twabategeeza ne batugamba tugende tulabe era twagenda nabo okulaba ekiriwo.
Muwaganya : Wa ku kibanja ensawo we yali??
Beekalaze: Ku kibanja kuliko olusalosalo era waliwo omuti gwa gasiya. Ensawo we baagireeta ne bagiwagika era waliwo akati akaali we baagiteeka ku seng’enge. Poliisi bwe baalaba ensawo baatubuuza oba twali tugikutteko. Awo Najjuuko n’atuma abaserikale baleete giraavuzi era ye n’amenya ebiti mateeka, okwetooloola n’emabbali w’ensawo okulemesa abantu okugikwatako. Bwe baaleeta giraavuzi Najjuuko ne banne ne bambala, ne basitulayo ensawo n’agiteeka wansi, n’agisumulula. Naye yali tannagisumulula kwaliko akatabo aka “Excerise Book”. Najjuuko yasumulula ensawo n’abikkula, n’alabamu ekiveera ekyeru n’akisitula, era ekiveera ekyo bwe yakibikkula ng’era munda mwalimu ekiveera ekirala ekya bbulu,n’abikkula. Era awo yeekanga n’ayogera mu luzungu nti “it’s a human head” ekiveera naakikasuka ebbali. Awo Okectch yajja n’akebera okwetegereza ekirimu. Okectch yasitula akaveera n’akwata n’omutwe ku nviiri n’agutulaga n’amugamba “mutwe ya muntu” era awo Okectch yakuba essimu mmotoka n’ejja ng’eriko abawala n’abalenzi. Oluvannyuma nnamanya nti baali baserikale ba poliisi. Nnalaba abaserikale ng’abamu balina kkamera ng’era bakuba ebifaananyi, abamu baalina ebiyiso ne bafumita ku mutwe. Oluvannyuma baaleeta ebipapula ne bateekamu ekiveera. Yaleeta ekirala n’assaamu ensawo, ekirala n’assaamu essimu n’ebitabo ebyali awo. Byonna baabiteeka mu mmotoka ne batugamba temweraliikirira ne bagenda. Ne tusigala ku kyalo kyaffe nga bwe twali, bo ne bagenda.
Muwaganya : oyogedde Ku nsawo, omutwe, ekitabo, ensawo. Waliwo ekirala kye walaba mu kifo ekyo.
Beekalaze: Waali waliwo nigiina eza bbulu. Oluvannyuma poliisi yatugamba ne Kazibwe tugenda tukole sitetimenti era bwe twatukaayo ne batubuuza era ne tubabuulira ne bawandiiko ne basigaza obuwandiike.
Muwaganya: Walaba omutwe ogwo. Omuntu oyo wali omumanyi?
Beekalaze: Nnali simumanyi, nnali simulabangako mu kitundu kyaffe.