Ebifaananyi

Ebifaananyi 9; Atalina biwandiiko bizitowa tatawaana kusala kibuga

EKIBUGA Kampala kyeyongedde okukaluba! Atamanyi kwewozaako takiyingira poliisi bw’eyongedde amaanyi ku buguwa bw’esibye ku nguudo zonna eziyingira ekibuga

Ebifaananyi 9; Atalina biwandiiko bizitowa tatawaana kusala kibuga
By: Patrick Kibirango, Journalist @New Vision

Tewali akkirizibwa kusala kuyingira okuggyako oyo alina ensonga ey’esimba ennyo ate ng’alina n’bimwogerako ebizitowa.

Owa bbooda ng'agezaako okuwalira ng'omuserikale amuggyako ppiki ye

Owa bbooda ng'agezaako okuwalira ng'omuserikale amuggyako ppiki ye

Ku nguudo okuli olwa Blue room, Namirembe road, Kafumbe Mukasa road, Mini price, Mukwano Road, Mackay Road n’endala wonna waliwo obuguwa nga tewali akkirizibwa kusala kudda mu kibuga.

Ono yagezezzaako okwewozaako nga buteerere

Ono yagezezzaako okwewozaako nga buteerere

Ku buli kaguwa kuliko abaserikale ababagalidde emiggo okutangira abantu okusala n’agezaako okuwalaza empaka zimuyitako, n’abavuga pikipiki nabo tekibataliza akwatibwako nga tayambadde masiki oba elementi ng’alugwamu .

Omukazi ng'aezaako okukunukkiriza annyonnyole omuserikale

Omukazi ng'aezaako okukunukkiriza annyonnyole omuserikale

Okusala olina okuba ng’omanyi okuwoza oba ng’ebiwandiiko byo by’olina bizitowa nnyo okumatiza abaserikale.

Abantu nga bagezaako okusala akagwa

Abantu nga bagezaako okusala akagwa

Owa bbooda ng'agezaako okwewozaako

Owa bbooda ng'agezaako okwewozaako

Wano nga ppiki omuserikale agitwala

Wano nga ppiki omuserikale agitwala

Ono omukyala yeesottedde kagaali ke

Ono omukyala yeesottedde kagaali ke

 

Tags:
Ebifaananyi
Amawulire