Ebifaananyi

Ssentongo obusuubuzi abugasseeko okulima emmwanyi n'agaziya ennyingiza

“OBUSUUBUZI bulimu ssente era singa njagala ssente nandibadde nsigala mu kusuubula, naye njagala omulimu gwe nfunamu ssente ezange era nga gye ng’enda okuwummulira mu bukadde bwange”, bino bigambo bya Aloysious Ssentongo.

Ssentongo ng’alaga emmwaanyi ze ezibaze ng’azaaliridde ebisoolisooli.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

“OBUSUUBUZI bulimu ssente era singa njagala ssente nandibadde nsigala mu kusuubula, naye njagala omulimu gwe nfunamu ssente ezange era nga gye ng’enda okuwummulira mu bukadde bwange”, bino bigambo bya Aloysious Ssentongo.
Mu mboozi y’olugendo lw’okunoonya abawanguzi b’empaka z’Omulimi Asinga 2026, ezitegekebwa Vision Group ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne ziwagirwa bbanka ya dfcu, kkampuni ya KLM ne Koudijs BV, SARAH ZAWEDDE akuleetedde emboozi ya Aloysious Ssentongo omusuubuzi ow’amaanyi mu Matugga ne Semuto agamba nti, obusuubuzi yabuwummudde n’abukwasa ffamire n’adda mu kulima emmwaanyi, kasooli, olusuku, kalittunsi n’okulunda ente by’agamba nti, ky’ekirooto kye ky’asuubira okuwummulirako.

Ssentongo alina ffaamu ya yiika 80 ku kyalo Bugomba mu ggombolola ya Makulubita mu disitulikiti y’e Luweero. Mu kiseera kino alinako yiika z’emmwaanyi mwenda z’agamba nti, azze agaziya ky’asuubira nti, kijja kukyusa obulamu bwe. Alima kasooli yiika mwenda, emiti gya kalittunsi yiika 13 n’ente 35.
OKUTANDIKA OKULIMA
Ssentongo yatandika na kulima nnyaanya ku yiika bbiri mu 2021 nga kati yakyuusa n’adda mu kulima emmwaanyi. Bw’aba asimba asima ekinnya kya ffuuti 1.5 obugazi n’okukka wansi ffuuti 1.5 nga kino kisobola okukwata obulungi ebigimusa n’ekikolo okunywa obulungi amazzi endokwa n’efuna weeriira.
EMMWAANYI
“Emyaka esatu egiyise nagenda mu mwoleso gw’ebyobulimi ogwali ku Ssaza Ground e Masaka ogwali ku mulamwa gwa “Mmwaanyi Terimba” gye nasanga abalimi abaali bafunye mu kulima emmwaanyi, abali bakweyagaliramu okukamala ekyasoomooza mu bye nkola.
Mu busuubuzi nnali nguzeemu ettaka lya yiika 80 era bwe nakomawo natandikirawo okusima ebinnya by’emmwaanyi mu kitundu ekyasooka kya yiika bbiri mwe nasimba endokwa 400 ze nagula e Naggalama ku nnassale ku 1,500/- bulindokwa.
Nasimba amabanga ga ffuuti 10 ku ffuuti 10 nga nasimba kika kya ‘Cuttings’. Alina omulimisa amuyambako okuddukanya ffaamu eno eyamulaga obulungi obuli mu kusimba ebika by’emmwaanyi eby’enjawulo nga ky’akoze okusobola okufuna amakungula amalungi.
Bwe ng’enze nnambula balimi bannange gye nfunidde amagezi amalala mu by’okulima emmwaanyi nti, amabanga nsobola okugakendeeza ne nnyongera ku bungi bw’emmwaanyi nga nsimba ekikolo mu mabanga ffuuti 10 ku ffuuti ttaano wakati. Wabula amabanga gano nagasimbamu ebikolo ne gakendeera.
Emmwaanyi nzisimba mu nnyiriri ezeetadde obulungi okwanguyira okunoga n’okulimamu.
Emmwaanyi nzitadde mu miteeko nga waliwo ze nasimba nga nkozesa kigimusa kya nnakavundira ate endala nkozea kigimusa kizungu nga NPK n’ebirala nga ngeraageranya amakungula bwe gabeera,” Ssentongo bw’agamba.
OKUZIKUUMA OBUTAKALA
Nnasimba endokwa z’emmwaanyi mu kiseera ky’enkuba, omusana we gwatuukira naziwembera ne
Bukedde 13
Mmande June 22, 2026
“OBUSUUBUZI bulimu ssente era singa njagala ssente nandibadde nsigala mu kusuubula, naye njagala omulimu gwe nfunamu ssente ezange era nga gye ng’enda okuwummulira mu bukadde bwange”, bino bigambo bya Aloysious Ssentongo.
Mu mboozi y’olugendo lw’okunoonya abawanguzi b’empaka z’Omulimi Asinga 2026, ezitegekebwa Vision Group ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne ziwagirwa bbanka ya dfcu, kkampuni ya KLM ne Koudijs BV, SARAH ZAWEDDE akuleetedde emboozi ya Aloysious Ssentongo omusuubuzi ow’amaanyi mu Matugga ne Semuto agamba nti, obusuubuzi yabuwummudde n’abukwasa ffamire n’adda mu kulima emmwaanyi, kasooli, olusuku, kalittunsi n’okulunda ente by’agamba nti, ky’ekirooto kye ky’asuubira okuwummulirako.
Ssentongo alina ffaamu ya yiika 80 ku kyalo Bugomba mu ggombolola ya Makulubita mu disitulikiti y’e Luweero. Mu kiseera kino alinako yiika z’emmwaanyi mwenda z’agamba nti, azze agaziya ky’asuubira nti, kijja kukyusa obulamu bwe. Alima kasooli yiika mwenda, emiti gya kalittunsi yiika 13 n’ente 35.
OKUTANDIKA OKULIMA
Ssentongo yatandika na kulima nnyaanya ku yiika bbiri mu 2021 nga kati yakyuusa n’adda mu kulima emmwaanyi. Bw’aba asimba asima ekinnya kya ffuuti 1.5 obugazi n’okukka wansi ffuuti 1.5 nga kino kisobola okukwata obulungi ebigimusa n’ekikolo okunywa obulungi amazzi endokwa n’efuna weeriira.
EMMWAANYI
“Emyaka esatu egiyise nagenda mu mwoleso gw’ebyobulimi ogwali ku Ssaza Ground e Masaka ogwali ku mulamwa gwa “Mmwaanyi Terimba” gye nasanga abalimi abaali bafunye mu kulima emmwaanyi, abali bakweyagaliramu okukamala ekyasoomooza mu bye nkola.
Mu busuubuzi nnali nguzeemu ettaka lya yiika 80 era bwe nakomawo natandikirawo okusima ebinnya by’emmwaanyi mu kitundu ekyasooka kya yiika bbiri mwe nasimba endokwa 400 ze nagula e Naggalama ku nnassale ku 1,500/- buli
nzibikka n’ebisoolisooli omusana guleme kuziyitamu.
Nfuuyira n’eddagala erigukaza zisobole okukula obulungi nga tezivuganya nagwo ate kikekkereza. Awamu ngulimamu, okuggyako obuwakatirwa n’okuzifuuyira eddagala eritta obuwuka.
Nzisalira, okuziwawaagulira n’okuzitemera ensalosalo ezikwata amazzi. Kino kiziyamba obutasakaatira n’okussaako obulungi n’emiramwa okugejja olwo ne zizitowa okusobola okuvaamu ssente.
Mu kiseera ky’okukungula, nnoga mmwaanyi zengedde zokka okukuuma omutindo kuba zino zibeera zizitowa bulungi ne nzaanika ku matundubaali awaka okwewala okugendamu amayinja ne kasasiro.
OLUSUKU
Ssentongo agamba nti, olusuku yali yalutabiikiriza mu mmwaanyi enkulu eza yiika ebbiri olumuyambye ekinene okukungulamu emmere gy’aliisa ffamire n’abakozi. Agamba nti, olusuku lumuyambye kinene okwongereza ku nnyingiza ya ffaamu.
Agamba nti, olusuku alutemamu ensalosalo okuyamba okukwata mukoka okutaasa okukuluggusa ettaka eriddugavu erijjudde ebiriisa, era baalubikka okuziyiza omuddo okumera n’okukuumira amazzi mu ttaka.
KASOOLI
Nnina yiika mwenda eza kasooli gwe nkungula ne mmugabirira abakozi n’okukubamu emmere y’ebisolo. Ate ebisoolisooli mbikozesa mu kubikka ennimiro y’emmwaanyi ekitangira omuddo okumera n’okukuumira obunnyogovu mu ttaka.
OKUFUKIRIRA
Ssentongo agamba nti, talina buzibu na mazzi ku ffaamu kuba kuliko omugga ogukulukuta era yasimako n’ekidiba ng’akozesa ppampu ekolera ku soola okukuba amazzi.
Yateekako ttanka ezikung’aanya amazzi agawera liita 4000 ge bakozesa okufukirira ebirime kubanga omusana bwe gwaka ekiyitiridde kikosa emmwaanyi ekizireetera okufuuka ekirerya.
Agamba nti, teyeesigama ku mbeera ya budde okulima nti, enkuba ne bw’ebeera ntono amazzi gano ge gannyambako okufukirira ebirime n’okubifuuyira ekimwanguyiza emirimu ku ffaamu.
OKULUNDA NTE
Nnina ente 35 wabula mbadde n’olulyo olwa bulijjo, nalina ekirowoozo ky’okwongera ku bungi bw’ente n’okukyusa olulyo nsobole okufuna ente ezivaamu amata mu bungi. Nagezaako okukozesa empiso okuwakisa ente nsobole okufuna maleeto kyokka byagaana nga buli lwe bagikubamu enkwaso, olubuto terukwata kyokka omusawo ng’ansaba 170,000/- buli lw’agikubamu amazzi ekyali kinfiiriza mu ssente n’omusalo okuyitako.
Nasalawo okugula ennume maleeto
ey’omusitukwa egenda okunkolera olulyo olulungi ku ffaamu. Ente endala omulaalo azitambuza ku ffaamu okunoonya omuddo kyokka ennume n’ente enzungu endala azikuumira mu kiyumba.
Ente era nzifunako obusa bwe nkozesa mu kugimusa ettaka olwo ne nfuna emmwaanyi ennene obulungi ate n’enkota z’amatooke ezeegasa,” Ssentongo bw’agamba.
FFAMIRE
Ssentongo agamba nti, okutandika okulima emmwaanyi kigenda kugaziya ennyingiza ya ffamire ye kubanga amaduuka yagakwasa ffamire.
Abamu ku baana abakulu abalina diguli be batambuza bizinensi mu bye basoma ng’okubalirira ebitabo era nga bamuyamba okusasula emisolo n’ebyetaago ebirala.
ABAKOZI
Alina abakozi bataano abakola emirimu egy’enjawulo, nga bano mbalabirira mu buli kimu, nga waliwo ne lw’akozesa abasingawo ng’obwetaavu weebuli ne basasulwa okusinziira ku bye bakoze. Naye yeesasula ng’abakozi kuba y’asookerwako era yeenyigira mu buli kimu ekikolebwa .
OKUKUUMA EBITABO
Buli kikolebwa ku ffaamu okuli ennyingiza n’enfulumya, emisaala gy’abakozi, eddagala n’ebikozesebwa ebirala nga kiyamba okumanya enzirukanya ya ffaamu n’okusalawo ku nteekateeka ey’omu maaso kirina okuwandiikibwa.
OKUYAMBA EKITUNDU
Abatuuze nabaleetera amazzi amayonjo.
Nnyamba n’okuddaabiriza enguudo zaffe nga ziguddemu.
OKUSOOMOOZEBWA
l Akawuka akakaza obutabi n’ebikolo by’emmwaanyi, kano akalwanyisa na kufuuyira ssaako okusimula enduli z’emiti egisaliddwa ku ffaamu.
l Eddagala ly’okufuuyira likyali lya buseere.
l Abakozi abadduka oluvannyuma lw’okubatendeka.
l Ababbi b’emmwaanyi abawulula zonna ne bakosa omuti gw’emmwaanyi.
EBISEERA EBY’OMU MAASO
l Ssentongo alina ekirooto ky’okuzimba ekyuma ekisunsula emmwaanyi asobole n’okuzigattako omutindo.
l Ayagala okwongera ku bungi bw’emmwaanyi z’alima.
l Okuzimba sitoowa eyeetadde obulungi ne w’akaliza emmwaanyi.

Tags: