FRANCIS Otayi,43, ne Mary Adongo, 30, nga bano bafumbo, abatuuze b’e Kireka D mu Division y’e Namugongo mu Munisipaali y’e Kira batuuyanidde mu kaguli ka kkooti ento e Kira omulamuzi Winnifred Agelun bw’abasomedde emisango esatu egyekuusa ku bufere.
Denis Arinitwe nga mutuuze w’e Kireka D gy’alina amayumba g’abapangisa yaloopa abafumbo bano ng’abalanga okwesenza ku nyumba ye nga tabawadde lukusa kw’ossa okujingirira ebiwandiiko ebiraga nti, baamusasula ensimbi ng’ono agamba nti, bano baamussaako emisango egy’enjawulo nga baagala okumuggyamu ensimbi okuli n’okujingirira obutambi obulaga nti, yakwata Adongo.
Baakwatiddwa ne baggalirwa ku poliisi ya Jinja Road oluvannyuma ne baleetebwa ku poliisi y’e Kira gye bavudde ne batwalibwa mu kkooti e Kira omulamuzi Agelun n’abasomera emisango okuli; okujingirira ebiwandiiko bya lisiiti ebiraga nti, baasasula Arinitwe ssente z’obupangisa, omusango gw’okutambuza ebiwandiiko bino ebijingirire nga bino baali baabissaako n’omukono gwa Arinitwe nga omusango ogwokusatu gwa kusaalimbira mu kifo ekikyamu nga bino byonna byaliwo mu mwaka oguwedde mu mwezi gwa October nga emisango gyonna abavunaanwa baagyegaanyi.
Adongo yasoose kutegeeza mulanuzi nga bw’amanyi olulimi lumu Oluteso wabula bwe baamutegeezeza nti, kabongereyo omusango okutuusa nga bafunye omuvvuunuzi n’ategeeza nga bw’amanyiimu Oluganda n’Olungereza olutonotono Baasindikiddwa mu kkomera e Luzira okutuusa leero nga June 22, 2026.