ABAKYALA abembuto, baakubiriziddwa okwewala okunywa omwenge, okufuuweeta sigala, enjaga, shisha n’ebiragalalagala ebitamiiza, okwewala okuzaala abaana abalwadde b’emitima. Akulira eddwaaliro ly’abaana e Nalufenya mu kibuga Jinja, Dr.
Emmanuel Tenywa ye yawadde amagezi, g’ekikugu eri abakyala abazadde mu mboozi eyaakafubo, ku bulwadde bw’emitima, obweyongedde mu baana ensangi zino mu lusiisira lw’ebyobulamu.
Abasawo abakugu abeegattira mu kibiina kya Uganda Cardiologist Association abeegasse ne Jinja Regional Referral mu kibuga Jinja baategeezezza nti, bagenda kulongoosa abaana 20 emitima. Dr. Emmanuel Tenywa, omu ku bakugu abawomyen omutwe mu ntegeka zino, yategeezezza nti, abaana 20, nga bali wakati w’emyaka 2 ne 12, be bagenda okulongoosebwa emitima egiriko ebituli okutandika nga June 28, okumala wiiki emu. “Tugenda kulongoosa abaana bano ku bwereere wadde nga mu ddwaaliro ery’ obwannannyini wano mu ggwanga, osasula ensimbi ezitakka wansi wa bukadde 30”, Dr. Tenywa bwe yannyonnyodde. Yategeezezza nti, abaana emitwalo 20, be bazaalibwa mu Disitulikiti za Busoga ez’enjawulo, nga ku bano 1,000, bazaalibwa n’obulwadde bw’emitima, wabula ekirungi singa balongoosebwa mangu, kyangu okuwonera ddala. Akulira eddwaaliro ly’e Jinja, Dr. Alfred Yayi, yategeezezza nti, guno, gwe gujja okubeera omulundi ogwokusatu, ng’abasawo Bannayuganda balongoosa abaana emitima.