KCCA ne Vipers zeenywezezza

VIPERS ne KCCA zongedde okwenyweza bwe zanjudde abazannyi abalala.Vipers eyasoose okwanjula Mark Yallah enzaalwa y’e Liberia, yayanjudde omuwuwuttanyi, Enock Ssebaggala (24) okuva mu NEC.

Achai ku kkono ne Ssebaggala awanise omujoozi gwa Vipers.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

VIPERS ne KCCA zongedde okwenyweza bwe zanjudde abazannyi abalala.
Vipers eyasoose okwanjula Mark Yallah enzaalwa y’e Liberia, yayanjudde omuwuwuttanyi, Enock Ssebaggala (24) okuva mu NEC.
KCCA yayanjudde Herbert Achai okuva mu Express okumugatta ku Ivan Ahimbisibwe eyavudde mu URA ne Lazaro Muhindo eyabadde mu Kitara FC. Achai ne Ssebaggala bali mu Cranes eyeetegekera okuzannya CHAN. Achai yaliko mu KCCA n’agivaamu mu sizoni ya 2022/23 okugenda mu Express.
Vipers eyawangula ebikopo 2 (liigi ne Stanbic Uganda Cup) sizoni ewedde, y’egenda okukiika mu mpaka za CAF Champions League ate KCCA erwana kudda ngulu oluvannyuma lw’okumala sizoni 7 eziddiring’ana nga tewangulayo kikopo.
Ssebaggala yaweereddwa omujoozi nnamba 8 ogwayambalwanga Omunigeria, Abubakar Lawal kati (omugenzi). Yakoze endagaano ya myaka 2 okufaananako ne Achai. Ssebaggala agenda kuvuganya ne Joseph Marvin Youngman, Patrick Mbowa, Abdul Karim Watambala, Abubakali Walusimbi, Moses Waiswa n’abalala. Ate Acahi waakuvuganya ne James Mubeezi.