Budiope 0-2 Bukono
July 19
Butembe - Kigulu e Namagera
Bukooli Bugiri- Bugabula,Hindocha
Bunha - Buzaya ,Buluuba
KYABAZINGA, William Wilberforce Gabula Nadiope IV yacamudde abantu bwe yatonteza akapiira ng’aggulawo empaka z’Amasaza ga Busoga ku Lwmukaaga.
Yabadde ku kisaawe ky’essomero lya Irundu mu disitulikiti y’e Buyende. Kyabazinga yakutte omupiira n’atandika okugutonteza okumala ekiseera ekyasanyudde abalabi abeeyiye ku kisaawe kino. Yawerekeddwako pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo.
Bukono yawangudde Budiope ggoolo 2-0 ezaateebeddwa Emmanuel Nabola ne Abel Muwola mu kitundu ekyokubiri. Omutendesi wa Bukono, Farouk Kiige yawaanye baamusaayimuto be yatandisizza nga tabeekakasa ne bafuuka ensonga mu kucanga akapiira era be baamuwadde obuwanguzi. Omutendesi wa Budiope Isa Kifuwa yagambye nti baakubiddwa lwa buvune.
Emipiira gino giddamu July 19 ku bisaawe eby’enjawulo