Bakafulu ba Uganda mu kuvuga eggaali, Charles Kagimu ne Jordan Ssekanwagi beesowoddeyo okwetaba mu ggaali ezigenda okutolontoka kiromita 800 mu kaweefube w’okusonda ssente okuyamba abanoonyi b’obubudamo mu bukiikakkono bwa Uganda abali mu nkambi ya Rhino Refugee Camp.
Entekateeka zino zikoleddwa bannalotale ba Konge – Lukuli wamu n’ekitongole kya Hope Field Children and Women Ministry mu Rhino Refugee Settlement nga zitegekeddwa okubaawo nga December 7-14.
Kagimu ye nnantameggwa wa Africa mu mpaka ez’akafubutuko ate nga yabadde nemu Olympics ate nga Ssekanwagi ye yawangudde eza Grand Nairobi Bike Race eza jjiya nga October 5.
Abategesi banoonya ssente okugula eggaali zi maanyi-gaakifuba 60 okuziwa abayizi mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamu ku Rhino Camp basobole okuwona okuseyegguka olugendo oluwavu okutuuka ku ssomero lya siniya lyokka erya Olua SSS erisangibwa mu nkambi eno.

Nga beetegekera empaka
Pulezidenti wa Konge-Lukuli Rotary Club, Alex Agaba ategeezezza nti ebimu ku bigendererwa bya bannalorale kwe kuyamba abantu abali mu mbeera embi okuli eby’enjigiriza, okufuna amazzi amalungi n’ebirala.
“Obuyambi bwaffe bugenda buli eri muntu. Tomanya muntu gwe muyambe ky’alibeera mu maaso,” Agaba bwe yategeezezza mu kutongoza eggaali zino ezijja okuvugubwa okumala wiimi nnamba nga zitandika December 7 ziggwa nga 14.
Akulidde okubanga okugendo luno, munnalotale Mathias Lukwago ategeezezza nti zigenda kuvugibwa mu nnaku musanvu mu siteegi musanvu.
Siteegi esooka etuumiddwa Nile eva Kampala okutuuka e Jinja ate eddako eya Elgon esimbule e Jinja okutuuka e Mbale.
Eyokusatu etuumiddwa Awoja eva Mbale okutuuka e Soroti ate eyokuba eya Ngetta yaakuva Soroti okuduuka e Lira.
Eyokutaano etuumiddwa Muchson eva Lira etuuke e Pakwaki ate eya Albert Nile eve e Pakwaki okutuuka mu Arua.
Esembayo etuumiddwa Rhino Stage yaakuva mu Arua okutuuka mu nkambi y’obubudamo eno eya Rhino.
“Zigenda kuyamba mu by’enjirigiza ng’abana bagenda ku mawomero kubanga 90 ku buli 100 mu nkambi tebasoma. Zigenda era kubayamba eby’obulamu n’embeera eya bulijjo ate tusobola n’okufunamu abalina talanta mu kuvuga eggaali,” Lukwago bwe yategeezezza mu kutongoza eggaali zino ku Makindye Forest Park.
Lukwago asabye amakkampuni n’abantu ba ssekinnoomu okusasulira abavuzi mu siteegi zino mu kaweefube w’okunoonya ensimbi ezinaagula amagaali gano ate n’okugabira abavuzi abanaamalako ebirabo.
Abavuzi abalala abagenda okwegatta ku luvuga luno kuliko Brenda Sikoya, Mary Aleper, Lukuman Magoba, Musilimu Kiwanuka, Kuzairu Nsubuga, Abdu Lubega ne Willy Kato eyawangudde eggaali zi Maanyi-Gaakifuba eza Grand Nairobi Bike Race e Kenya nga October 5.
Amakkampuni agateddemu ssente mu ggaali zino kwe kuli Crisis Response Network, Minet, Africa Global Logistics, Buffalo Bikes, World Bicycle Relief, Konge-Lukuli Rotary Club, Rotary Uganda ne Uganda Police Club.
“Tukyetaaga abavujjirizi,” Lukwago bwe yategeezezza.
Ebibiina bya bannalotale mu siteegi ze bagenda okuyitamu betegese okwaniriza abavuzi bano nga bayita mu lugendo.