Abazannyi ba gymnastics boolesezza omutindo

President wa Uganda Olympic committee Dr. Don Rukare atenderezza abavubuka b'omuzannyo gwa gymnastics olw'obukodyo n'obuyiiya byebaayolesezza mu mpaka za gymnastics ezaabaddewo olunaku olw'eggulo nga Uganda ekuza ameefuga agemyaka 63.  

Dr. Don Rukare ng'akwasa abawanguzi ekikopo
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

PULEZIDENTI wa Uganda Olympic committee Dr. Don Rukare atenderezza abavubuka b'omuzannyo gwa gymnastics olw'obukodyo n'obuyiiya byebaayolesezza mu mpaka za gymnastics ezaabaddewo olunaku olw'eggulo nga Uganda ekuza ameefuga agemyaka 63.  
Empaka zino ezatuumiddwa gymnastics for all zetabiddwamu tiimu 10 okwabadde ezabaana abato nabakulu nga ne tiimu okuva mu ggwanga lya DRC yazeetabyemu.

Abazannyi nga boolese obukodyo

Abazannyi nga boolese obukodyo


Legacy Holders yeyawangudde ezabavubuka oluvannyuma lwokukunganya obubonero 110 neddirirwa St. Joseph’s Naggalama ate Karuna Team nekwata ekifo ekyokusatu newangula omudaali ogwekikomo.
Empaka ezaabakulu zaawanguddwa Artistic Family abaacamudde abasazi bempaka olwobukolomooni bwebaayolesezza okukira ku banaabwe. 
Bano wabula baasanze okuvuganya okwamaanyi okuva mu ba congo abaatabudde obukolomooni namazina gabacongo agamanyiddwa ennyo nga lingala.
Artistic Family’s baweereddwa ekikopo nga kyabakwasiddwa Dr. Rukare,eyabadde omugenyi omukulu.

Abazannyi nga boolesa obukodyo

Abazannyi nga boolesa obukodyo


Rukare yatenderezza abavubuka olwbitone byebaayolesezza ebyalaze ebiseera bya Uganda ebyomumaaso ebitangaavu mu muzannyo gwa gymnastics.
President wekibinaekifuga omuzannyo guno mu ggwanga ekya Uganda Gymnastics Federation Harriet Ayaa yatenderezza omutindo ogwayoleseddwa abavubuka nasaba okwongerwa ensimbi ezissibwa mu muzannyo guno okwongera okugukulaakulanya.
Empaka zino zaakozeseddwa okuzuula nokutumbuula omuzannyo gwa gymnastics mu Uganda.