EYALIKO ssita wa Express ne Cranes, lsaac 'Ironman' Nkaada yatowoolokose ku bulumi eggulo, abaaguzannyako bwe baamukyalidde mu ddwaaliro e Mulago okumukulisa ekiso. Ku Mmande, Nkaada yalongooseddwa kookolo w'omu busajja (prostate cancer) era abaaguzannyako abeegattira mu kibiina kya 'Former Senior Footballers Initiative (FSFI) nga bakulemberwa Paul Ssali baamulumbudde ku kitanda ne bamuwa obuyambi.
Ssali yagenze ne Paasita Paul Musisi (Express) nga kati y'akulira Caring Heart Community Victory Church e Kaggula mu Wakiso, Yusuf Kyeyune Chuni, Godfrey Nyola (baali mu Express), Sam Mugambe, Charles Ssenyange (baali mu KCC), George Sserunjogi (Express/KCC), Godfrey Kitatta (Mbarara/ Express/ Simba), n'abalala. Baamutwalidde ebikozesebwa omwabadde ebyokunywa, ebyokulya ne ssente enkalu n'okumusabira Katonda amussuuse. Nkaada, yabeebazizza omwoyo gw'obwasseruganda