VIIKA Genero w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Msgr. Rogers Kabuye atenderezza Babbulaaza b’e Kisubi (Brothers of Christian Instruction) olw’okutumbulan ebyenjigiriza. Yasiimye obutume bwabwe, obussa essira ku kusomesa abaana n’abavubuka, n’okubayigiriza eddiini n’empisa ennungi ez’obugunjufu. Yeebazizza mu ngeri ey’enjawulo Babbulaaza abaasooka okujja kuno, nga bava e Canada mu 1926,
olw’okwerekereza ebirungi ebyali mu nsi yaabwe ne basalawo okujja kuno bagunjule
abaana ba Uganda, wakati mukusoomoozebwa okw’enjawulo. “Tujjukira n’essanyu lingi
Babbulaaza ababereberye, okwali Bro. Charles-Jules Poitras. Tebaali basuubuzi abajja okufuna ssente, oba abalambuzi abajja okubaako bye balaba banyumirwe, wabula baali baminsane ddala, abatume abajja okukola omulimu Katonda gwe yabakwasa. Abantu bangi ab’omugaso, abayise mu masomero ga Babbulaaza b’e Kisubi.
Mu bano mulimu Bannamateeka, Bayinginiya, Abasawo, Bannabyanjigiriza, Bannabyabufuzi, Bannabyanfuna, Abasaseredooti, Bannaddiino n’abalala bangi. Twebaza Katonda olw’obuweereza bwabwe, kati obuwezezza emyaka 100,” Msgr. Kabuye bwe yagambye.
Yabadde ayigiriza mu mmisa gye yasomedde mu Uganda Martyrs High School Lubaga, essomero lino bwe lyabadde lijaguza emyaka 100 bukya Babbulaaza b’e Kisubi (abaalitandikawo) batuuka kuno.
Yasabye Babbulaaza abaliwo kati, okutwala mu maaso emirimu n’ebigendererwa ebirungi ebya bannaabwe abaabakulembera, nga bagunjula bulungi abaana n’abavubuka, awatali kuwugulwa kintu kyonna.Abayizi yabakubirizza okweyambisa obulungi emikisa gye balina, basome bulungi, bafuuke abantu ab’omugaso. Omukulu w’essomero lino, Bro. Herman Tamale yakubirizza abantu bonna abayagaliza ekibiina kya Babbulaaza b’e Kisubi ebirungi, okuwaayo ensimbi, basobole okuzimba ennyumba Babbulaaza abakadde mwe banaasuzibwanga, n’okulabirirwa, era ng’ennyumba eno y‘egendan okubeera ekijjukizo ky’ekijaguzo eky’emyaka 100 egy’obuweereza bwa Babbulaaza
mu ggwanga lino. Ssenkulu wa Babbulaaza, Bro. Casio Aizire yategeezezza nti entikko ya jubileewo y’ekyasa kya Babbulaaza yakubaawo nga September 5, 2026, n’akunga Abakristu ne Bannayuganda bonna okwetaba ku mukolo. Ekijaguzo kyatambulidde kumulamwa ogugamba nti: Tujjukira, Tujaguza, Tukkiriza.n Babbulaaza b’e Kisubi bajja kuno mu 1926