BANNALOTALE aba Kampala Nsambya baategese olusiisira mu Zone ya Ssebuliba e Kansanga mu divizoni y’e Makindye olwettaniddwa abantu okuva mu bitundu ebiriraanye okufuna ku bujjanjabi obw’obwereere. Ab’ebyobulamu abaavudde mu ddwaaliro ekkulu ery’e Mulago okujjajaba abantu baakizudde ng’obulwadde bwa siriimu bweyongedde. Baalaze nga ku bantu 10 bebaakebedde abantu babiri ku basatu baasangiddwa n’akawuka ka siriimu ate nga bonna baabadde tebamanyi bwe bayimiridde.
Abantu baakebereddwa endwadde ez’enjawulo omwabadde akawuka ka siriimu, omusujja gw’ensiri, ssukaali, puleesa ssaako okujjanjabwa endwadde ez’olukonvuba.
Abantu abasoba mu 500 be baweereddwa obujjanjabi ng’abaasinze obungi baabadde bakyala n’abaana. Dr. Sulaiman Bwogere ow’e Mulago yagambye nti, baafunye abantu bangi okusinziira ku be baabadde basuubira ng’abasinga baabadde n’ebifuba, endwadde z’ensusu n’omusujja gw’ensiri. Dr. Bwogere yagambye nti, abaasangiddwa n’akawuka
baateereddwa ku ddagala eriweweeza akawuka erya ARVs.
Pulezidenti wa lotale y’e Nsambya, Donna Tusiime yeebazizza bannalotale y’e Nsambya olw’omutima ogw’obuyambi. Yalaze nga lunow’abadde lusiirira lwakusatu
olw’ebyobulamu omwaka guno nga baatandikira Buloba, Mpigi ne Nakasajja. Tusiime yasabye abazirakisa okudduukirira abeetaaga obuyambi