Emboozi

Ebikolo by’eddagala 12 ebizzaamu omusaayi

ABANTU bangi bafuna ekizibu ky’okukendeera kw’omusaayi mu mibiri gyabwe ne balwawo okukinogera eddagala, abamu ne batuuka n’okussibwako eccupa z’omusaayi kyokka nga basobola okukozesa eddagala ly’obutonde eribeetoolodde okuziyiza ekizibu kino oba okukiwonya.

Moringa
By: MOLLY NAKKAZI, Journalist @New Vision

ABANTU bangi bafuna ekizibu ky’okukendeera kw’omusaayi mu mibiri gyabwe ne balwawo okukinogera eddagala, abamu ne batuuka n’okussibwako eccupa z’omusaayi kyokka nga basobola okukozesa eddagala ly’obutonde eribeetoolodde okuziyiza ekizibu kino oba okukiwonya.

Hibiscus

Hibiscus


Waliyo ebikolo by’eddagala ly’obutonde eby’enjawulo ebisobola okuyamba singa embeera ebeera ekuzitooweredde n’oddamu omusaayi.
Dr. Frank Gombya, omukugu mu kunoonyereza n’okukola eddagala ly’obutonde okuva mu Uganda Herbalists & Cultural Association (UHCA) agamba nti, osobola okufuna mu bikolo bino singa obikozesa nga bw’olambikiddwa. Wammanga bye bimu ku bikolo n’eddagala ebiyamba omuntu okuddamu omusaayi.


 Ebikoola bya ovakkedo: Bino bijjudde ebirungo nga Vitamiini C, Potassium, Zinc, Iron, Calcium ebiyamba omuntu okuddamu omusaayi. Omukugu agamba nti, olina kufuna ebikoola ebitaliiko butuli n’obyozaako.

Bifumbe okumala eddakiika 30 onyweko ekitundu ky’ekikopo ku makya n’olweggulo nga liwoze.

Ebikoola bya ovakkedo

Ebikoola bya ovakkedo

Enkooge: Zino oziteeka mu mazzi amafumbe n’onywa. Omubisi oguzivaamu ofunamu Vitamiini, Potassium, Zinc ebiyamba omusaayi okutambula obulungi ne gutuuka mu
buli kitundu kya mubiri.

Lino terikaawa naye ddagala ddungi eri abo abatalina musaayi era abalina obuzibu bw’okusannyalala, fumba okumala eddakiika 20 onyweebikopo bibiri (2) buli lunaku.

 Ssezira: Akaddo kano kamera buli wamu naye abantu abasinga tebakamanyi nti, kazzaamu omusaayi singa okakozesa ng’omukugu bw’akulagiridde. Kano kalimu ebirungo nga Iron, Potassium ebiyamba okukola omusaayi.

Ebbugga: Lino osobola okulirya ng’enva zokka kubanga ddungi mu kukuuma omubiri
 nga gulina omusaayi ogumala olw’ebirungo nga potassium, magnesium, calcium ebirimu ebiyamba mu mbeera eno.

Ebbugga

Ebbugga


 Musaayimuto: Onoga ebikoola bya musaayimuto n’obifumba n’onywako ekitundu ky’ekikopo ku makya n’olweggulo.
Omussa : Ebibajjo by’omussa bikulu mu kwongera obuto aali obukola omusaayi mu mubiri gw’omuntu, bifumbe oteekemu omunnyo mutono onywe ekitundu ky’ekikopo buli lunaku

 Ekkajjo ly’enjovu: Nalyo ddungi mu kwongera omusaayi, fumba onyweeko ekikopo kimu buli lunaku okumala akaseera akagere.

Ekkajjolyenjovu

Ekkajjolyenjovu


 Ebikoola by’amapeera: Onoga ebikoola ebirungi ebitaliimu butuli n’obyozaako oluvannyuma n’obifumba n’onywa nga biwoze. Osobola okubikaza n’obikolamu ensaan gy’osobola okunywera ku caayi.
Moringa: Ono ajjudde ebirungo nga iron, folate, vitamiini C n’ebirala bingi ebiyamba omuntu okuddamu omusaayi. Osobola okukolamu ensaano n’ogissa ku caayi n’onywa, oba okufuna ebikoola n’obifumba n’onywako nga liwoze, ekitundu ky’ekikopo ku makya n’olweggulo.
Tags:
omusaayi
ebikolo
eddagala
obutonde