
Asambazze ebigambibwa nti, ennaku zino waliwo ekika ky’omusujja ekipya, nga mu kunnyonnyola kwe agamba nti, omuntu atakwatibwangako musujja, bwe gumukwata gwanguwa mangu okutabuka n’ayisibwa bubi era nga gusobola n’okumutta.
Dr. Nabakooza agamba nti, bw’okwatibwa omusujja, omubiri gwo gusigala n’ekijjukizo ky’enkegeri y’okugulwanyisaamu nga gubadde guzzeemu okukulumba naddala mu kaseera nga gukyali ku mutendera ogusooka (nga tegunnanyinyitira).
Olw’okuba abantu abakulu abasinga basing’aanibwa ng’abaserikale b’emibiri gyabwe bafunye embavu, ate nga bazze bakwatibwa omusujja, emibiri gyabwe gyerwanako ne batayisibwa bubi nnyo, ekintu ekitabeerawo mu baana.
OMUSUJJA GW’ENSIRI MU UGANDADr. Nabakooza agamba nti, lipooti eraga entambuza y’emirimu mu minisitule y’ebyobulamu gye baafulumya mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2024/2025, eteeka Uganda mu kifo kyakusatu mu mawanga agasinga okubeeramu abalwadde b’omusujja gw’ensiri, era ku buli balwadde 10 b’osanga ku ddwaaliro, basatu musujja gwe gubeera gubaluma.
Uganda ekwata ekifo kya 10 mu mawanga agasinga okubeeramu abantu abafa omusujja gw’ensiri. Lipooti y’emu, eraga nti, buli lunaku mu Uganda omusujja gw’ensiri gutta abantu 16.
Mu mbeera bw’etyo, abakugu bagamba nti, okumanya obubonero bw’omusujja gw’ensiri nga bukyali kye kimu ku bisobola okukendeeza ku muwendo gw’abo abafuna n’okuttibwa obulwadde buno.
OBUBONERO BW’OMUSUJJA GW’ENSIRIOmukugu mu by’omusujja gw’ensiri, Dr. Myers Lugemwa agamba nti, waliwo obubonero obusobola okubagulizaako omuzadde nti, omwana we yandiba ng’omusujja gw’ensiri gumuyodde. Kuno kuliko:
1 Okuwulira omuliro mu mubiri (ebbugumu ly‘omubiri eringi ku lya bulijjo), ate nga mu kaseeraky’enke
kamu owulira n’empewo.
2 Okulumwa ennyingo n’okuwulira nga zimenyesemenyese.
3 Okubulwa obwagazi bw’okulya emmere oba ekintu ekirala kyonna.
4 Okusesema.
5 Okuddukana okutonotono.
6 Okufuka omusulo ogufaanana nga caayi omukalu.
OBULABE BW’OMUSUJJA GW’ENSIRIDr. Lugemwa agamba nti, omusujja gwa bulabe naddala ng’oli agugayaaliridde embeera n’esajjuka, era omuntu afuna:
1 Okwesika, nga kino kibeerawo nnyo mu baana be gukwata eyaabwe n’ebakuba.
2 Okugenda ku bwongo n’obeera nga tokyategeera bulungi oba n’okugwira ddala eddalu.
3 Okufuka omusaayiOmusaayi okukuva mu nnyindo oba mu matu.
5 Okulemererwa okufuka, nga kino kibeerawo ng’obuwuka bw’omusujja buzibikidde ensigo z’omu mugongo.
6 Okuggwaamu amazzi.
7 Omutima okulekera awo okukuba obulungi.
8 Okuzirika oba okufa.
OKUZIYIZA OMUSUJJA GW’ENSIRIDr. Nabakooza agamba nti, gavumenti etadde essira ku kuziyiza omusujja gw’ensiri, era mu kaweefube waayo ow’okugutangira kuliko okufuuyira n’okugabira abantu obutimba bw’ensiri buli luvannyuma lwa myaka esatu.
Waliwo ensiri ezibadde zinyooma eddagala erissibwa mu butimba era kati bwe bagaba babutaddemu eddagala lya bika bibiri (2) okuzifutiza zonna.
l Eddagala lye bassa mu katimba liwangaala emyaka esatu.
Obucaafu bukendeeza amaanyi g’eddagala erissibwa mu katimba. N’olwekyo akatimba okukola obulungi kalina okukuumibwa nga kayonjo.
Wabula mu myaka esatu, kalina okwozebwa emirundi 20 gyokka, ate tolina kukozesa ssabbuuni wa buwunga oba jjiiki. Okunoonyereza kwazuula nga ssabbuuni ow’ekitole yekka y’akola obulungi. Akatimba bwe kayulika olina okutunga bulungi nga bw’otunga olugoye oluyulise, ate n’okafundikira bulungi ekiro