SSENTE mu bizinensi y’okulunda ente ogiggya mu kutunda nnyama oba mata. Noolwekyo kikwetaagisa okusalawo ky’ogenda okukola nga tonnaba kussaamu ssente olwo osobole okulunda ente ezigenda okukuwa ekyo ky’oyagala okussa ku katale mu bwangu ate mu bungi.
Nga tonnaba kusalawo kugenda mu mata oba nnyama, waliwo ebintu by’olina okutunuulira olyoke osalewo bulungi kuba singa bino tobitegedde, oyinza okumaliriza ng’ofiiriddwa.
l Ekitundu : Mu kusalawo ekika ky’ogenda okulunda, ekifo w’oteekateeka okussa ffaamu yo kikulu. Ente z’amata tezeetaaga kutambula kuba amaanyi ge zikozesa okutambula zeetaaga okugatereka zigakozese okukola amata nga y’ensonga lwaki abalunzi b’ente z’amata abasinga bazirundira mu biyumba ng’osobola n’okuzirundira mu kibuga.
Ate ente z’ennyama olw’okuba zibeera nzito, zeetaaga okutambula mu ngeri y’okukola dduyiro nga kino kitegeeza nti, weetaaga ettaka eggazi kw’oziteera ne zigenda zirya olwo olw’eggulo n’ozongereza ku muddo gwe ziridde ku ttaleokukkuta obulungi.
l Omuddo : Omuddo y’emmere eriisibwa ente era olina okukakasa nti, olina obusobozi obufunira ente zo omuddo oguzimala. Ente y’ennyama yeetaaga omuddo mutono bw’ogeraageranya n’eyamata kuba erina okulya ogugimala okukola okubeerawo ate n’okukola amata.
Singa ogiriisa omuddo mukalu, yeetaaga kkiro 10-25 okusinziira ku bukulu n’okubeera ng’eyonsa oba ekamizza, ate omubisi kkiro 50-80. Ente y’ennyama yeetaaga omuddo mutono ko ku guno ng’omukalu erya kkiro 10-15 ate omubisi kkiro 45-70 olunaku.
Noolwekyo kakasa ng’ogenda kusobola okufuna obungi bw’omuddo guno okuliisa ente zo kuba singa teziifune muddo kulya kukkuta, tezigenda kukuwa ky’oyagala nga ez’amata tezigenda kukuwa mata ate ez’ennyama tezigenda kussaako mubiri kusobola kutundibwa mu budde.
l Akatale : Eno nsonga nkulu kuba singa obeera mu kitundu nga liita y’amata egwa n’etuuka ku 500/-,y’okutambuza amata okugatuusa ku katale akategeerekeka. Ate alunda ez’ennyama kigenda kukwetaagisa okuzirunda mu bungi okusikiriza omuguzi okujja atuuke mu kitundu gy’oli okuzigula okusobola okuzifunamu kuba singa onoobeera n’entono, omuguzi agenda kukudondola nga yeekwasa entambula.
l Ssente z’entandikwa : Ssente z’olina nga kapito nazo zisalawo kinene ku kika ky’ente z’ogenda okulunda. Okugeza olina okubala ssente z’ogenda okussa mu kuzimba ennyumba, ettaka, okusimba oba okugula omuddo, abakozi ate n’ensolo zennyini. Okugeza ente z’amata ng’esobola okukuwa liita 25 n’okudda waggulu olunaku, egula wakati w’obukadde buna n’ekkumi okusinziira ku lulyo ne ffaamu w’ogiguze ate ey’ennyama osobola okukuza ennansi nga zino zitandikira ku 500,000/- ate enzungu gamba Boran zitandikira ku bukadde bubiri n’ekitundu so nga singa ogamba okuziyingiza okuva ebweru w’eggwanga zituuka ku bukadde omusanvu.
kitegeeza nti, kigenda kukwetaagisa okussaawo enkola