ABALUNZI baanirizza enteekateeka ya gavumenti okugemesa ente obulwadde bwa kalusu okw’obuwaze mu kaweefube w’okulwanyisa n’okubumalirawo ddala kuba bubadde bufiiriza eggwanga mu kiseera kya kalantiini.
Obulwadde bwa kalusu bumaze ekiseera nga butawaanya eggwanga nga mu 2023 abalunzi mu disitulikiti ezisoba mu 40 naddala mu birundu by’enkoola baatawaanyizibwa obulwadde buno era Gavumenti yassaawo kalantiini eyatwala emyaka egisoba mu ebiri mu disitulikiti ezimu.
Kino kyakosa ebyenfuna by’abalunzi, ebitundu n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu ng’ente ezibivaamu tezikkirizibwa ku katale wadde amata gaazo.
Ente ezikwatiddwa obulwadde buno, zifuna ebiwundu ku mumwa, olulimi n’ebigere era ng’evaamu amalusu mangi, eremererwa okuwaka, ekendeeza amata, okukogga ate ente zifa era kisobola okukwata omuntu abeera alidde ennyama oba okunywa amata.
balina bugayaavu ate nga balina obusobozi kuba ente ze balina za bbeeyi okusinga ssente kano akasabibwa ate nga bwe batagema basobola okuvaako okubalukawo kw’ekirwadde eri ababeera bagemesezza ezaabwe,” Lugoloobi bw’agamba.
Jacqueline Devis owa Jacque Devis Farm e Kyankwanzi, agamba nti, bbo babadde bagema ente zaabwe nga kino gavumenti ky’ekoze kya kubayamba kuba babadde nga bafuna obuzibu ng’eddagala libuze.
“Tubaddenga tugemesa ente zaffe wabula ng’oluusi eddagala libula. Gavumenti bw’ebeera eyingidde mu kugemesa obulwadde buno kitegeeza nti, eddagala ligenda kubeerawo ekiseera kyonna olwo tubeera tusobola okugema ente zaffe mu budde,” Devis bw’agamba.
Godffrey Kakooza akwataganya emirimu gy’ekibiina ky’abalimi mu disitulikiti y’e Kayunga agamba nti, enteekateeka eno nnungi wabula Gavumenti yeetaaga okulowooza ku balunzi abalina ente ezisoba mu 100 kuba kino kibeera kibeetaagisa ssente nnyingi okugema ente zaabwe zonna.
14 Bukedde
Mmande June 22, 2026
Obulwadde buno bwatawaanya ente, okutabula amazzi, emmere n’ebirala. Wano gavumenti ng’eyita mu minisitule y’obulunzi, obulimi n’obuvubi yavuddeyo n’enteekateeka y’okugemesa ente zonna mu ggwanga ng’abalunzi baakusasula 8,000/- ku buli nte buli luvannyuma lwa myezi mukaaga era ng’eneebeera tegemeddwa tegenda kukkirizibwa mu katale wadde ebizivuddemu.
Henry Sight Lugoloobi, nnannyini Sight Farm e Namulonge, agamba nti, kino kyalwawo okukolebwa kuba obulwadde bwa kalusu buzing’amya ebyenfuna by’abalunzi ng’omulunzi okusasula ssente zino, kibeera kiyambira ddala kuba waliwo abamu ku balunzi ababadde baatandika edda okugema ezaabwe.
“Ndowooza nga n’ekibonerezo ky’obutakkirizibwa kuyingira katale olw’obutagemesa nte zo ekitono kuba abalunzi abamuOkusinziira ku minisita w’amagana mu minisitule y’obulimi, obulunzi n’obuvubi, Bright Rwamirama, ente yonna eneebeera tegemeddwa, tegenda kukkirizibwa ku katale wadde ebigivaamu.
Yagambye nti, okugema okusooka mu nteekateeka eno kwa kubeerawo wakati w’omwezi gwa June ne August omwaka guno ate okw’okubiri kubeerewo wakati wa January ne February omwaka ogujja (2027) ng’ente erina okugemebwa buli luvannyuma lwa mwezi mukaaga.
Okusinziira ku Rwamirama Uganda erina ente ezisoba mu bukadde 16.5, embuzi obukadde 17.4, endiga obukadde 4.4 n’embizzi obukadde munaana. Kino kitegeeza nti, Uganda erimu ebisolo obukadde 45.5 ebisobola okukwatibwa obulwadde buno.
Rwamirama agamba nti, baagala okulaba nga waakiri bagema ebisolo 80 ku 100 buli lugema nga Gavumenti amaze okugula ddoozi z’eddagala ekika kya High Potency Quadrivalent erisobola okukuuma ebisolo okuva eri obuwuka bwa kalusu obw’emirundi ena obusinga okubeera obw’obulabe.