NG’EKIRIME ky’emmwaanyi buli lukya kyeyongera ettutumu olw’ebbeeyi, abo abeegattira mu bibiina by’obwegassi mu mulimu guno baganyuddwa. We bwatuukidde ku Lwokutaano ng’ebibiina bino wonna mu ggwanga mu disitulikiti ezirima emmwaanyi nga biweze 237.
Joseph Nkandu, akulira ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi mu ggwanga ekya National Union of Coffee Agribusiness and Farm Enterprises (NUCAFE) akkaatiriza amakulu n’omugaso gw’ebibiina bino eby’obwegassi mu kusitula omutindo gw’emmwaanyi okuva ku ddaala erimu okudda ku ddala.
Ebibiina bino byongedde okuggumiza enteekateeka ya Gavumenti oy’okwekulaakulanya ku mutendera gw’omuluka eya Parish Development Model (PDM).
Abalimi mu bibiina bino bongedde okukungula ku ngeri y’okufunamu endokwa z’emmwaanyi ez’embala, embala yaazo, endabirira ssaako n’amagezi ag’ekikugu mu nnima yaazo.
Emmwaanyi bwe zimala okukungulwa ne zaanikibwa mu ngeri ey’omulembe, bwe zikala obulungi, abalimi beegatta ne bafuna ebyuma ebiziggyako akakuta ne basobola okutunda kase okufuna ekisingawo.
Oluvannyuma lw’amakungula, abalimi nate beekolamu omulimu mu bibiina bino okunoonyeza awamu akatale kaazo ak’omulembe wano mu ggwanga ssaako n’abo abazitwala wabweru w’eggwanga.
Abalimi abatunda emmwaanyi embisi ssaako n’enkulu wabulanga zikyaliko akakuta beeyongedde okukendeera nga kati abasinga bettanira kuzikubisa kase.
Olwokutaano we bwazibidde nga bbeeyi ya kase ow’emmwaanyi za Robusta ezirimibwa mu Buganda n’okwetooloola ezzeemu okulinnya okutuuka ku 13,500/- buli kkiro ya kase ate kibooko ku 6,200/- n’okudda waggulu.
Abalimi b’emmwaanyi ba ssekinnoomu baagala gavumenti ayongere okubawa obukuumi kuba ababbi baazo beeyongedde obungi.