EKYEYA ekikubye Uganda kitadde bannansi wakati mu bunkenke nga beebuuza eky’okukola olw’ebbula ly’emmere, amazzi n’amata.
Amata gongedde okubula mu bitundu eby’enjawulo mu ggwanga, ng’ekizibu kino abalimi bakitadde ku ppereketya w’omusana akazizza omuddo, n’ensulo z’amazzi ng’ente tezikyakkuta ate tezinywa mazzi gamala.
Embeera eno eyongedde okusajjuka, Bannayuganda abalina amata bwe basazeewo okugatunda e Kenya gye bagagula ku bbeeyi eya waggulu. Mu bitundu nga Ssembabule, twatuuse mu bifo eby’enjawulo omutundirwa amata nga waggale!
Minisita w’ebyobusuubuzi e Kenya, Lee Kinyanjui agamba nti Kenya kati amata egaggya mu Uganda, esobole okuziba ekituli ekireeteddwa ebbula ly’amata e Kenya olw’ekyeya.
Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abalimi n’abalunzi ekya Uganda National Farmers Federation (UNFFE), Dr. Dick Kamuganga yagambye nti, abalunzi amata gabakendeddeko olw’omusana ogwememula ogukazizza omuddo, n’ensulo nga kati ente tezikyafuna mazzi na mmere emala.
Kamuganga yagambye nti, abalunzi abaakaza omuddo ne bagutereka, nagwo gwakubaggwaako essaawa yonna, obuzibu bweyongere. Yawadde Gavumenti amagezi okuyamba ku balunzi ebafunire ebyuma ebikaza emmere n’okuzimba sitoowa omuterekebwa emmere, ensolo zaabwe zisigale nga zibawa amata mu kyeya.
Ate ye omulunzi w’ente z’amata, mu kibiina kya Uganda Crain Creameries Co-operative Uganda, George Nuwagira yagambye nti Gavumenti kye kiseera eyambe abalimi okufuna ebyuma ebifukirira ku bbeeyi eya wansi, basigale nga balina omuddo ne mu kyeya. Eky’amata okugatwalae Kenya, yagambye nti ekyo tewali ngeri gye bayinza kukyewala kuba ssente z’e Kenya nnyingi okusinga akatale ka wano.
Maneja wa Diary Farmers e Sembabule, Leticia Ahereza agamba nti amata gabulidde ddala ate akulira eby’ebisolo mu disitulikiti eno, Angel Ssali yawadde abalunzi amagezi okusimba omuddo ogumala kuba ekyeya tekisobozesa muddo guli mu faamu zaabwe okumala.
E MBARARA AMATOOKE N’AMATA BIRINNYE EBBEEYI
Okunoonyereza kwe twakoze mu Ankole Region kwalaze nti, ente zitandise okufa, ekireetedde abamu okuzitunda ku layisi. Mu butale obw’enjawulo, amatooke gaalinnye, ng’ettooke eribadde ku 10,000/- kati lituuse ku 35,000/-. Abasuubuzi bagamba nti mu bitundu nga Isingiro, Ibanda ne Rubirizi, ensuku zaakaze nga kati pikipiki y’amatooke evudde ku 60,000/- okutuuka wakati wa 150,000/- ne 200,000/-.
ABALIMI B’EMMWAANYI BAWEEREDDWA AMAGEZI
Ng’abalimi b’emmwaanyi bali mu bweraliikirivu olw’ekyeya ekisaanyizzaawo emisiri gyabwe, abakugu mu by’emmwaanyi babawadde amagezi ku kye balina okukola okuva mu mbeera eno, n’okugigobera ddala.
Akulira ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi mu ggwanga ekya National Union of Coffee Agribusiness and Farm Enterprises (NUCAFE), Joseph Nkandu yagambye nti buli mulimi akoseddwa, asooke yeebuuze ku bakugu ky’aba azzaako mu nnimiro ye ng’enkuba ezzeemu okutonnya.
Yagambye nti, ebikolo by’emmwanyi ezikaze, abalimi balina okubitema ng’enkuba etandise ziroke. Yagambye nti, kino kibe kyakuyiga nga buli alowooza okutandika okulima, abaako w’aggya amazzi ag’okufukirira singa akasana kayitirira.
Nkandu era yagambye nti emisiri egisinze okukosebwa, gye gitaliimu miti gya bisiikirize n’egitaliimu bigimusa bikuumira mazzi mu ttaka.
Nagamba, lino libeere ssomo eri abalimi bakole ebintu bino mu misiri gyabwe. Yasabye abalimi okwettanira endokwa ez’omulembe era beebuuze ku bakugu nga bagenda okulima.
KATIKKIRO AWADDE AMAGEZI
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yasabye abantu abalina ennimiro eziriraanaganye mu byalo beegatte bazisimire enzizi ezinaabasobozesa okubeeranga mu makungula buli kaddeYagambye, kino kyakubayamba okukendeeza ensimbi buli omu ze yeetaaga okusima oluzzi okufukirira ebirime bye.
“Omuntu afukirira ate ye abeera ku mugano mu kyeya kuba ebirime by’abalala biba byakala dda, nga ye anoga,” Mayiga bwe yawabudde.
Amagezi gano yagaweeredde Mmengo bwe yabadde ayogerako eri abantu abazze okuleeta oluwalo olw’okukulaakulanya Obwakabaka n’akubiriza Abaami ba Kabaka okubunyisa obubaka buno, bunnyikire.
Abantu bano baavudde mu ggombolola ezikola essaza ly’e Busujju, Mumyuka Wakiso mu Busiro, Nangabo ne Kawempe okuva mu Kyaddondo. Ne bannakibiina kya ‘Buganda Yiyo Buganda yange’ ekyakulembeddwa ssentebe waakyo, Dan Munaawa baaleese oluwalo lwa bukadde buna.
Katikkiro yalaze obukulu bw’okusima oluzzi nti wadde luyinza okukumalako ssente eziri mu bukadde ate luyinza okukuyamba okutaasa obukadde bw’ensimbi nga 15.
“Ensonga eyo nkulu nnyo kubanga kaweefube w’emmwaanyi terimba avuddemu ebirungi naye amagezi ge tubawa, musooke mufune abakugu mu by’enjazi eziri wansi, bababuulire nti tosima wano, sima wali oluzzi,” Mayiga bwe yagambye