NNALI mmaze n’omwami emyaka 10 naye oluvannyuma n’ankyawa era n’angoba bubi. Nagenda n’abaana bange 3 ne mbakuza nga talina ky’ampa era kati bakuze ng’asembayo asoma kkoosi.
Omwami yawasa abakyala nga basatu nga bonna abagoba era yasigala talina. Omwaka oguwedde bangamba yatandika okulwala sukaali nga tava ku ndiri. Kati bannyina bazze okundaba era bano be baamukwaniranga abakyala.
Ebbanga lyonna mbaddewo nga tebakyala wange kati baagala ng’ende nzijanjabe mwami ono. Nazimba ennyumba yange ate nnina emirimu gye nkola mwe nfuna eky’okulya. Nagaanyi okubawuliriza era baavuddewo bayomba nti bagenda kundoopa mu kika. Ssenga nakoze bubi? Ekisooka, obuvunaanyizibwa bw’okulabirira omwami oyo tebuli ku ggwe. Omwami yakusuulawo n’afuna abakyala abalala. Okukuloopan mu kika, bakutiisatiisa. Omuntu waabwe abalemye okulabirira kati baagala kukusuulira mugugu ogwo. Tebabadde mikwano gyo, tebalina kye bakuyamba ku baana kati baagala gwe era ofiirwe ebiseera ne ssente ng’oli ku mulwadde. Omwami ono singa mukyali mwenna wandibadde olina okukikola mu buntu. Ennaku zino abantu bangin baagala okusuula obuvunaanyizibwa. Kaakati banyigiriza abo be bamanyi nti tebalina kye basobola kukola oba abo abalina ekisa ekingi. Kati mwana wange otawaanye n’abaana baabwe, baakugoba mu mak kati kye kiseera okufuna ku mirembe. Nga taata w’abaanav bo tekikugaana kulabirira mwami ono naye kikole mu budde bwo ate kola ky’osobola kuba toyagala taata w’abaana kubonaabona. Ekirala ng’omulabirira ani agenda okukuwa ssente ez’okumulabirira kuba emirimu gyo ogenda kugireka odde ku mulwadde? Buli kimu olina okukyetegereza.