ABANTU 33 abagambibwa okubba, n'okwenyigira mu kukola efujjo, be baayoleddwa mu kivvulu kya Nyege nyege Festival e Kangulumira ku Kalagala Falls mu disitulikiti y'e Kayunga.

Abamu ku badigize nga banyeenya ku galiba enjole
Emisango egyasinze okuloopebwa, bwabadde bubbi bw'amasimu era nga emisango gyonna awamu, gyabadde 62. Essimu eziwera 21 ze zaazuuliddwa okuva ku babbi nga ku zino , 18 bannyini zo, baabafunye.
Ensonda mu poliisi zitegeezezza nti abantu 33 , be baayoleddwa mu bikwekweto mu kivvulu era nga bakyagenda mu maaso n'okubasunsulamu ku poliisi ez’enjawulo.