ABALUNZI b’ente z’amata abeegattira mu kibiina kya Bugagga Kulunda Dairy Cooperative-Kayunga bakuutiddwa okukozesa tekinologiya abaweereddwa okuwakisa ente zaabwe okusobola okukyusa endyo n’okwongera obungi bw’amata n’amagoba.
Dr. Ronald Kanaakulya, nga ye musawo w’ebisolo owa disitulikiti ye yakubirizza abalunzi, aba Genex Africa Farm Center Ltd nga bali wamu ne The Trade for Jobs initiative bwe baabadde bakwasa ebikozesebwa mu tekinologiya w’okusakisa ente n’agamba nti, tekinologiya ono mukulu mu kwongeza obungi bw’amata n’ennyingiza z’abalunzi ssekinnoomu.
Mu byabaweereddwa mwabaddemu; ebyanzi (Cans) omubeera omukka okutereka enkwaso nga nnamu ku ofiisi, enkwaso ez’endyo z’amata ez’enjawulo n’ebirala ebikozesebwa mu kulunda ente.
“Tuwulira ffaamu endala nga zirina ente ezibawa liita 30 n’okudda waggulu kyokka ffe bangi ente zituwa liita ttaano zokka. Singa tukyusa endyo ze tulina n’enzirukanya ya ffaamu zaffe, kigenda kutuyamba okukyusa ennyingiza nga ffaamu zifuuse bizinensi,” Dr. Kanaakulya bw’agamba.
Dr. Hamid Rutaro, akulira Genex Africa Farm Center Ltd, agamba nti, kino si kya kukoma ku kwongeza bungi bw’amata wabula n’okutondawo emirimu eri aba ffamire ate n’abantu mu bitundu abalunzi mwe bali.
Agamba nti, singa omulunzi ayongeza obungi bw’amata g’afuna mu nte ze, kitegeeza nti, agenda kwetaaga abakozi okumuyambako ku mirimu egy’enjawulo ng’okutambuza amata, okugagattako omutindo, okukola emmere y’ente, okusasulira abasawo n’ebirala.
Dr. William Kabanda okuva mu Genex Africa Farm Centre, agamba nti, basooka kutendeka bawakisa nga bava mu kitundu okusobola okwanguyiza abalunzi okufuna obuweereza mu bantu abamanyi kye bakola ate nga babali kumpi.
Agamba nti, kino bakikola okumalawo okusoomoozebwa n’obweraliikirivu bw’abalunzi obw’okukozesa amazzi okuwakisa ente zaabwe kyokka ne zitawaka era nga baabawadde endyo ennungi ddala okuli; Friesian Holstein, Jersey, Brown Swiss, Ayrshire ne Girolando.
Mr. Emmanuel Kisimu, Ssentebe w’ekibiina akubirizza bannakibiina okwettanira okukozesa ebibaweereddwa okusobola okunyweza enkolagana ne Genex ate n’okusasula ssente ezibawoleddwa ate nga nabo bafunamu.