Emboozi

Ayagala okukola amagoba mu bulunzi essira lisse ku muddo

OMUBAKA wa Budaaki mu Uganda akubirizza abalunzi okussa essira ku muddo okusobola okukola amagoba mu bizinensi y’okulunda kuba mwe muva emmere eriisa by’olunda omuli ebinyonyi n’ebisolo okufuna amata n’ennyama.

Joseph Nkandu (wakati) ng’asomesa abalimi ku musiri gwe ogw’emmwaanyi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUBAKA wa Budaaki mu Uganda akubirizza abalunzi okussa essira ku muddo okusobola okukola amagoba mu bizinensi y’okulunda kuba mwe muva emmere eriisa by’olunda omuli ebinyonyi n’ebisolo okufuna amata n’ennyama.
Frederieke Quispel nga y’e Mubaka wa Budaaki mu Uganda ng’atongoza ekitabo kya Pison Busingye ne mukyala we Jolly Asiimwe ekikwata ku kulima omuddo ng’empagi eri obulunzi era bizinensi ekola amagoba kye baatuumye ‘Turning Grace into Cash’ yagambye nti, omuddo tegulina kulabibwa nga muddo wabula emmere.

Busingye ne Asiimwe aba Itungo Pastures be baakwata ekyokubiri mu mpaka z’Omulimi Asinga 2025 ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde ng’ekitabo kino bagamba nti, baakiwandiise okulaba nga bayamba abalunzi okukendeeza ssente ze basaasaanya ku kugula emmere y’ebisolo bye balunda.
“Abalunzi bangi bassa ssente mu kugula emmere entabule okusobola okufunira ebisolo n’ebinyonyi byabwe bye balunda ebiriisa omubiri gwe byetaaga ne beerabira nti,ebiriisa byonna biri mu muddo ate n’ebisolo biteekeddwa okulya omuddo mu butonde bwabyo,” Busingye bwe yagambye.
Eno y’ensonga lwaki bano baasazeewo okuwandiika ekitabo kino okusobola okuyamba abalunzi okutegeera obukulu bw’omuddo, ennima n’enkwata yaagwo mu kiseera ky’okuguliisa ebisolo, okugutereka nga bagukolamu Hay ne sayiregi n’ebirala.
OBUKULU BW’OMUDDO MU BULUNZI
Quispel agamba nti, omuddo emu ku mpagi ezigenda okusalawo obungi bw’amata n’ennyama by’ogenda okufuna okuva mu bisolo by’olunda n’amagoba ga ffaamu kuba emmere etwala ebitundu 60-70 ku 100 eby’ensaasaanya ya ffaamu.
Ategeeza abalunzi nti, nga bw’olaba omuntu, ensolo nayo yeetaaga ebiriisa omubiri eby’enjawulo okukula obulungi n’okusobola okukuwa ekisinga.
“Ebiriisa ebirungi tebikoma ku kwongeza bungi bw’amata oba nkula ya nsolo kukuwa nnyama, wabula bigiyamba okutonda amagi amalamu mu bungi ate n’omusitula obwerinde bw’ensolo olwo otangire okubalukawo kw’ebirwadde mu nsolo zo,” Quispel bw’agamba.
Ng’oggyeeko okwongeza by’ofuna mu by’olunda, okusitula omutindo gw’emmere, okubeera n’omuddo kisigala nga kkubo n’ekkubo eryangu okugaziya enAyagalanyingiza z’abalunzi.
Agamba nti, omuddo gw’ente, kirime kyetaagisa okulabirirwa obulungi okutandikira ku kulonda ekika ekituufu, okulonda ensigo, okulabirira obugimu bw’ettaka enkungula yaagwo ate n’okugutereka.
Annyonnyola nti, okutumbula omuddo n’okugulima kiyamba abalunzi okukwataganya okusoomoozebwa kw’enkyukakyuka y’embeera y’obudde n’ekyeya ebisinga okutawaanya abalunzi mu Uganda nga bafiirizbwa olw’obutabeera na muddo gumala kuliisa nsolo zaabwe.
Quispel yakubirizza abalunzi ba Uganda okwewala okukoppa tekinologiya gwe balaba mu mawanga ag’ebweru nga Budaaki kuba embeera za bizinensi mu mawanga abiri zaawukana nnyo.
Mu Budaaki, okufuna abakozi kya bbeeyi nga y’ensonga lwaki abalunzi bakozesa tekinologiya (loboti), ate nga mu Uganda erimu abantu abasobola okukola emirimu gya ffaamu bangi naddala abavubuka ate nga balina amaanyi agasobola okukola emirimu. Noolwekyo mubawe emirimu,” Quispel bw’agamba.
Asiimwe agamba nti, ekitabo kino kyawandiikiddwa okwanguyiza abalunzi okutegeera enkwata y’omuddo n’engeri gye kigenda okuyambaabalunzi okugaziya ennyingiza n’amagoba agakolebwa mu ffaamu zaabwe nga kagula 50,000/-.
“Ekitabo kino twakiwandiise nga tuyambibwako abakugu abaakulemberwamu Dr. Jolly Kabirizi, omukugu mu kunoonyereza ku by’endiisa y’ensolo okukakasa ng’ebissiddwa mu kitabo kino bigasa abalunzi okugaziya ennyingiza n’amagoba bye bandibadde bafuna mu misomo ekitwala ebiseera n’okusasulira obutitimbe bwa ssente,” Asiimwe bw’agamba.
Busingye agamba nti, ekitabo kirimu n’ekitundu ekiraga engeri omuntu gy’asobola okukola ssente mu kulima omuddo. Agamba nti, singa omuntu alima omuddo nga Chroris gayana mu yiika asobola okukungulamu obulibota 300 nga buli kamu ka 10,000/- nga kitegeeza nti, obeera ofuna obukadde busatu ate nga zino ozifuna buli luvannyuma mwa myezi esatu.
Eyali Kattikkiro wa Uganda Ruhakana Rugunda yeebazizza ba Busingye olw’okusomesa n’okwagazisa abalala naddala abaana nga ku mukolo kwabaddeko ab’essomero lya St. John-Wakiso, kye yagambye kirungi kuba abaana babeera batandise bakyali bato okwagala eby’obulimi n’obulunzi

Tags: