Amawulire

Omugagga w’e Mukono afudde yaakayingira kalina ye empya

ENTEEKATEEKA z’okuziika omugagga w’e Mukono, Yesse Mubangizi Kamanyire eyafiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala ziwedde.Omulambo gwe gwatwaliddwa ku kimu ku bifo bye ekiyitibwa York Palace and Gardens, e Mukono, abatuuze gye baagukubiddeko eriiso evvannyuma, era ne wategekebwawo okusaba. Oluvannyuma gwatwaliddwa mu maka ge agasangibwa eDdandira, Mukono, gye gugenda okuggyibwa gutwalibwe ku All Saints Cathedral, e Nakasero, mu kusaba okwenjawulo.

Kalina omugenzi Mubangizi gy’abadde yaakayingira e Mukono.
By: Stuart Yiga, Journalist @New Vision

ENTEEKATEEKA z’okuziika omugagga w’e Mukono, Yesse Mubangizi Kamanyire eyafiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala ziwedde.
Omulambo gwe gwatwaliddwa ku kimu ku bifo bye ekiyitibwa York Palace and Gardens, e Mukono, abatuuze gye baagukubiddeko eriiso evvannyuma, era ne wategekebwawo okusaba. Oluvannyuma gwatwaliddwa mu maka ge agasangibwa e

Ddandira, Mukono, gye gugenda okuggyibwa gutwalibwe ku All Saints Cathedral, e Nakasero, mu kusaba okwenjawulo.
Wajja kubaawo okusabira omwoyo gw’omugenzi ku kkanisa ya St. Emmanuel esangibwa mu ttawuni y’e Kabwohe, mu disitulikiti y’e Sheema, ku Lwokusatu , ate enkeera gutwalibwe ku biggya bya bajjajja e ku kyalo Rushozi Kibutamo, gye gugenda okuziikibwa ng’emikolo gisuubirwa okutandika ku ssaawa 4.00 ez’okumakya.
ENGERI MUBANGIZI GYE YEERANDIZA
Mubangizi yaliko maneja mu kitongole ky’amasannyalaze ekya UEB kati ekiyitibwa UMEME nga wano we yatandikira okwerandiza. Olwamuwa akasiimo ke, n’atandika essomero lya sekendule erya Nile High, wamu n’amayumba mu Estate gye yatuuma
Nile Valley.
Yafuna omukisa ekitundu ku ttaka lye okuli faamu y’ente e Mukono ne kitwalibwa ab’ekitongole ekikola ku by’enguudo ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) era ne bamuliyirira obuwumbi bw’essente. W’afiiridde ng’aliko ekizimbe kya
kkalina ky’agugumudde mu bitundu by’e Gayaza, mu disitulikiti y’e Wakiso, era ng’aliko biroole ebisomba omusenyu by’aguze.
Wadde nga kitaawe omugenzi Kamanyire, yali musajja mubazzi ate nga nnyina Phoebe, mulimi, yasobola okusoma era n’ayitimuka.
Mubangizi abadde omu ku balenzi abataano n’abawala omukaaga, bazadde be be baazaala, era ng’abadde mpagi luwaga mu ffamire ye.
Mu biseera bye eby’eddembe, abadde atera okutambula n’okudduka ng’akola dduyiro kyokka nga bw’omusanga nga tomumanyi, oyinza okulowooza nti muntu waabulijjo nnyo.
MUBANGIZI ALESE OMUKULULO:
Ng’oggyeko okuba nti Mubangizi abadde mpagi luwaga eri ekkanisa ya St. Stephen –Mukono, Vicent Sajja, Maneja wa faamu ye, yategeezezza nti abadde musajja wa maanyi era nga y’abadde nnannyini kkampuni (Nile Valley Estate) omuli amayumba agasoba mu 10, nga waliwo n’amalala agatannaggwa. Yagambye nti alina ekifo
awategekerwa emikolo n’okwewummuzaamu ekiyitibwa York Palace Gardens, faamu
z’ente, ensuku, emiti, n’ebintu ebirala bingi.
Omugenzi abadde aweerera abaana abasoba mu 100 ng’abadde mmemba mu kibiina kya Lions Club of Kampala, ate ng’era ye muwi w’amagezi mu Mukono Lions
Club. Alese abaana bana okuli Olivia Natukunda, Phillimon , Amber ne Ingrid. W’afiiridde nga yaakayingi-ra kalina ye gy’abadde
yaakazimba e Mukono, oluvannyuma lw’okusenguka e Kamwokya
gy’amaze ebbanga nga gy’abeera

Tags: